
18/08/2023
OLWALEERO KATWEJJUKANYE KWEBYO EBIBEERAWO MU KUGGULAWO OLUKIIKO LWA BUGANGA.
Nga Bwetweteekateeka Okubaawo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Bwanaba Aggulawo olukiiko Lw'omulundi Ogwa 31 nga 21/08/2023 Ku Ku lwokusooka (Monday)eno Ku Bulange Mengo.
Ssaabasajja Kabaka Atuuka Era nayambala ekyambalo ekitongole Afuluma ebweru wa Bulange Nalamusa Mugyaguzo
Bwamaliriza Nayingira Mu lukiiko Lwa Buganda Era luba lukubyeeko Bugule omwo mubeeramu Abaami Ba Massaza,Abakiise,Baminisita Abagya,Abawummula Wamunaabo Abaliko, Nabagenyi Abenjyawulu Abo nga Basobola Kuba Ababaka Ba Palamenti,Abataka abakulu B'obusolya ne Ba Katikkiro Baawe,Abalangira na Bambejja, Nabagenyi Ba Kabaka Abayite.
Wabeerawo Okuyimba Oluyimba lwe Ggwanga,Okuyimba Ekitiibwa kya Buganda.
wabeerawo nokusaba okuva Mumasinzizo agengyawulo agali Mu Ugamda Kwolwo Okusaba kukulemberwa Enzikiriza Olukiiko lwe lubaba luloonze.
Ebyo Bwebigwa Katikkiro abeerako N'okwogera Okutonotono.
Awo Omuzindaalo Nagukwasa Avunanyizibwa Oba Minisita W'olukiiko Abagenyi Olwo Nayanjjula Abo Ssaabasajja Kabaka beyayatula amanya okuwereza okugeza Baminisita Abagya,Abakiise Mu lukiiko lwa Buganda,Wamu nabo Abakiise ebweru Wa Buganda ne Uganda 🇺🇬
Minisita bwamala okubayita Amanya ne bibakwatako Awo Nga beeyanza Obwami eri nnyunimu
Ekyo Bwekigwa Beene Asobola Akusiima nayogerako eri Obuganda awo Olukiiko Aluggulawo Mu butongole kyetuyita olukiiko olw'omulundi ogwa 31
Mubwangu ddala Enyimba ziyimbibwa olwe ggwanga olwa Buganda enyima bwezigwa kuba kufuluma lukiiko .
Ebifaananyi nga bikubwa eri abo Baminisita n'Olukiiko lwa Buganda lwonna.
Bwekigwa Omuterega Alamusa Mugyaguzo ebyo byonna bikolebwa Mu Ssaawa emu yokka Omukolo gwo kuggulawo Olukiiko lwa Buganda guba guwedde.
Ebyo byebimu kwebyo ebibeerawo ku lunaku olw'okuggulawo olukiiko lwa Buganda olukulu.
KATONDA KUUMA KABAKA WAFFE.