09/07/2025
Munnayuganda alina ennaku!🤔
Teebereza abantu abakulu nga bano, abakyaala n’abaami, abakulungudde emyaaka etaano (5) bweddu mu parliament nti balwanirira ffe abanaku, abaavu era abankuseere abaabesigisa obuyinza bwaffe bagende batuteeseze okulaba wakiri nga government etuuteraawo emirimo, obutale, n’ebbeeyi ku by’etukola, n’ebyetulima, okwo ssaako okutusakirayo akasente okwongera mw’ebyo ebitugasiza awamu okugeza, nga amasomero, amalwaliro, n’amazzi amalungi.
Kale oba bbo kennyini okutoola ku butitimbe bwaabwe obwensimbi z’ebagabanayo ezikunukkiriza (obukadde 70 buli mweezi) wamu n’ekibiina kyaabwe ekifuna ensimbi ezikunukkiriza (Obuwumbi 6 buli Mwaaka), batutandikirewo obukolero obutono mu bitundu by’affe tusobole okufunamu emirimo, n’okutundamu byetukola oba byetulima!
Okumanya abantu bano banaaba ensonyi ku maaso!
Awatali kantu kebatukoleddewo nti kaakano kw’ebyo enkuyanja by’ebatuusuubiza okutukolera, bakomyewo n’omugejjo gw’abwe okutuvuma amagufa, mu motocar empya ezitawulira binnya, nga besibiddenamu enfuufu ereme okubafuumuukira, batusabe tubasondere sente endala baddeyo mu parliament balye amasavu!
Teebereza abagagga ffugge, obutakwatibwa nsonyi kusaba ffe abanaku, abankuseere, era abaavu empongabyoya, awatali yadde kutunyonyola nsonga ki ebalemesezza okutuukiriza wadde ekintu ekimu kwebyo by’ebatusuubiza ku mulundi guli mu kalulu ka 2021, n’akiki ekikyuuse ku mulundi guno okuva ku bibaddewo ekibalowoozesa nti bw’etubasondera n’okubalonda ku mulundi guno bagenda kubituukiriza.
Kyannaku era kyewuunyisa nti ate ffe kennyini bantu b’ebamu abakulu bano b’ebawuddiisa ku luli, era ffe bamu n’ekuluno abasimbye ennyiriri okuwaayo, era sente zaffe ezekinaku tuziwaayo n’okwesindika twesindika mu ngeri ya (Alina y’ayongerwaako)!🤔
Kati wano wennyini wenjagala twebuulize nti; Ku bannabyabufuzi abazingamizza e Gwanga ly’affe, n’affe ababasondera sente okukikola, ani musobya?
Ekirala, omusaayi ogugenda okuddamu okuyiika kulw’ebyobufuzi ebibindabinda mu kalulu ka 2026 Nze kempita ekitta bantu (genocide). Ku ggwe oba Nze abawaayo sente ku lwekitta bantu kino, n’ebannabyabufuzi abakikulembeddemu b’etusondera sete, ani aguvunanyizibwaako obutereevu?