09/02/2025
Oluvanyuma lw'okutuuza Ssekiboobo n'abamyukabe abasatu wamu n'abebitongole ku Ssaza. Ssekiboobo yakola eteekateka zokulambula eggombola zona ezikola e ssaza Kyaggwe era nga 07th/02/2025 yalambudde e ggombolola ya Mutuba II Najjembe
Mu alipoota yomwami wa Ggobolola yabaddemu ebintu binji ebitukibwako mu myaka ekumi ejiyisewo bukya Ssekiboobo asembayo kujja ku Mbuga ya Mutuba II.
Mw'alipoota yalopye banakigwanyizi abeseenza ku ttaka lw'embuga nalifunako n'ebyapa.
Ssekiboobo mukwogerakwe Yebaziza nnyo Omwami wa ggobolola olwokunyweza essonga ssemasonga etaano, nadala ssemasonga eyokusatu ey'okukuuma ettaka. Yamusiimye olwokukuuma ettaka lyembuga era namutegeeza nga bwagedda okuyambako kwabo abeseenza kuttaka ly'embuga.
Owekitibwa Motovu Vicente mukussomesa kwe bweyabadde assomesa Abaami ba Ssabasajja okutandikira ku Abatongole n'abamyuka babwe wamu n'Abami okuva ku Muluka. Yabakubiriza okubeera abakulembeze obakozi era abajumbize eri eteekateka zobwakabaka.
Yabakubiriza nyo okulima emwanyi nga engiri yoka esobola okubajja mubwavu okulaba nga basa Buganda ku ntiko.
Omumyuka wa Ssekiboobo assoka yabakubiriza okukumiira abaana mumassomero era nabasaba okunonya abaana abagezi babalope eri minisita webyenjigiza e Bulange babafunire basale zamassomero aganabasobozesa okussoma obulunji. Yasembyeyo nga abasaba bakwataganenga ne government eyawakati kutekateka zeba erese mu bitundu byabwe wabula sosikubalwanyisa, nga mukulima e ggundo, yabakubiriza okuwayo akatini ku ttaka basobole okubalima eggundo.
Ssekiboobo Olukiiko yalufundikidde nga akwasa Omwami wa Ggombolola ekyuma kikalimagezi "Computer" kibayambeko mukutambuza emirimu gya ggombolola.
Ebisingawo birindirire mu mawuliregaffe agenda okufumiira mu maloboozi n'ebifanaanyi ku Kizigo media. https://youtube.com/?si=Abyc2JfSwl5QJVEC
Nze Kiggundu Alex Muzukulu wa Mugema owekitongole Kyamawurire n'okukuunga abantu ba Ssabasajja Kabaka mu Mutuba II Najjembe mu Kyagwe.