
06/05/2024
Kattikiro Charles Peter Mayiga avuddeyo ku bulamu bwa kabaka.
Katikkiro Charles Peter Mayiga agumizza obuganda nga kabaka bwaali omulamu newankubadde nga akyaali mitala w'amayanja afuna obujanjabi era nga waakudda kuno mukadde abasawo webanaalabira nti embeera yeyagaza naye nga mwali alamula .
Katikkiro ayogedde ku bibaddewo mu bwakabaka omuli abagenyi abakyaalidde obuganda awamu n'obugenyi obw'enjawulo katikkiro bwagenzeeko mu bitundu ebitali bimu , ono ategeezezza nti bino byonna biraga obumu awamu ne kabaka okuba entabiro y"abantu bonna mu Buganda ne Uganda okutwaaliza awamu .
Ensonga z'abakulembeze abagya kabaka beyasiimye okumukulembererako ebitundu ebitali bimu nayo tajireseeyo era nga wano asabye abakulembeze abakadde okuyambako kubagya okulaba nga batuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweereddwa.
Katikkiro mu kuggulawo olutuula lw'olukiiko lwa Buganda era akonyeeko ne kunkulaakulana ezituukiddwaako awamu n'ezitunuuliddwa mu bwakabaka omuli eby'obulamu nga muno mulimu amalwaliro agagenda okuggulwawo , eby'enjigiriza, eby'emizannyo , eby'obulimi omuli enteekateeka ey'emwanyi terimba nga muno yewazizza abantu okutwaalira amateeka mu ngalo eri abo abazibba nebirala.
Era akuutidde obuganda okwongera amaanyi mu kusimba emiti ku mikolo n'ebijaguzo ebitali bimu omuli okwanjula , embaga, enyimbe ,okugenda e Makka n'engendo endala ez'ediini awamu n'emikolo ejitali jimu, era yewazizza bamusiga nsimbi okuzimba amakolero mu ntobazi nti kino kyabulabe era basaanidde okukyeewala olw'ensonga nti amazzi gajja kubakosa newebuliba ddi omuli n'amataba .
Ku bigenda mu maaso mu ggwanga asabye ekitongole ekikungaanya ky'omusolo mu ggwanga ekya URA okukwata obulunji abantu bebakunganyaamu omusolo era n'okubayisa obulunji wabula asabye ne gavumenti okubaako kyekola ku biva mu musolo omuli enguudo naddala ebitundu ebivaamu omusolo omunji nga Kampala , Wakiso , Mukono , Masaka n'ebitundu ebirala , Enguzi mu kitongole kya URA ,abakozi obutaba nabukugu mu kyebakola nti bino nabyo bikosa enteekateeka zonna.
Mu buufu bwebumu awadde abasuubuzi amagezi okuwandiisa bizinensi zaabwe ate n'okukozesa abakugu omuli ababazi b'ebitabo , bannamateeka nabakugu abalala, era nabasaba baanirize enteekateeka eyemitimbagano nti tebalina kyakukola wabula okujaaniriza olwensonga nti ensi bwetyo bwetambula .
Ebyenjigiriza naddala ensomesa empya nayo ajaanirizza era n'asaba amasomero gatendekebwe mu nsomesa basobole okujitegeera obulunji naye yo ajitenderezza nti nnunji wabula asabye gavumenti okufuula agamu ku masomo okuba agobuwaze omuli ebyafaayo , ennimi ennansi, ebya tekinologyiya , eby'obulimi n'ebirala era nti ne minisita ow'eby'enjigiriza n'eby'emizannyo nga ono yemukkomukulembeze weggwanga yamuwandiikira ku nsonga zino .
Akunze abantu okukkiriza okubalibwa nti kino tekijja kukosa mbeera zaabwe , ku lwokutaano lwa sabiiti eno nga 10/05/2024 ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga ekya UBOS lwekigenda okubala abantu mu ggwanga okumala ennaku 10.
Ate ab'eby'obufuzi abasabye bawuliziganye nga bo omuli abavuganya gavumenti nabali mu buyinza awamu nabo bennyini munda mu bibiina byebakkiririzaamu.
Akuutidde abavubuka okwettanira emitimbagano wabula begendereze enkozesa yaajo.
Kattikiro asabye gavumenti okuyimbula abaakwaatibwa olw'ensonga z'ebyobufuzi nalaga nga bwawagira enteekateeka zonna ezinavaamu akalunji okulaba nga abantu bano bayimbulwa ate nga abasinga baganda.
Mukufundikira akuutidde abaami ba Kabaka okukola nga tebeebalira newankubadde nga waliwo okusomoozebwa omuli kabaka obutabaawo naye bakole baakuwoza olutabaalo nga nnyinimu akomyeewo.
Abaami abagya bakubye ebirayiro ebibakkiriza okutuula mu lukiiko luno nga bano babadde mwenda.