29/08/2026
GUSINZE MAFUMU NA NGABO, TWAYENJEDDE NNYO NNYINI!
0707973367 WHATSAPP.......................
Ppemmenku Lukeberwa Mutebi ng'ali ne muganda we Entare ya Tooro, Oyo Nyimba Kabamba Iguru. Oluganda lw'Omuganda n'Omutooro lusibuka Bunyoro ku Isingoma Rukidi Mpuga ne Mulongo munne Kato Kimera.
Osaanye omanye nti Kabaka Kasungubu Ssewannaku Mukaabya Kiggala, bweyava e Ddambwe yakuba ekibuga e Bunyoro. Gyeyaleka n'Omulangira Buganda Ntege Kiyimba, era Kiggala bweyakaddiwa ennyo nga takyeyinza. Yasalawo ave ku nnamulondo ya Bajajjaabe erinnyibweko mutabani we.
Nnamulondo tebagituulako balinnyako nninnye. Nnyina w'Omulangira Kiyimba, Omugave Nnabukalu yagenda e Bunyoro ng'akaada ng'omumegganyi amazeemu ekigwo. Eyo gyeyawummulira mu muti oguyitibwa Kiggamansole mu mwaka gwa 1464, nga kiwanuuzibwa mbu weewaava n'ekitiibwa 'Namasole' ekitegeeza nti 'Nnakazadde wa Kabaka'
Bwewazaalanga Kabaka, tewaddangamu kufumbirwa. Naye jjuuzi ku mulembe gwa Kabaka Muteesa ll, akalombolombo kano yakadibya n'akkiriza Nnyina okufumbirwa nga kitaawe Kabaka Daudi Chwa II afuuse Ssekabaka.
Atamanyi bya dda anyiga mu ly'emmindi, eby'edda bisasika nga tewali abizza buggya.
Kati kankukomyewo emyaka 30 egiyise. Omukama Patrick David Kaboyo Olimi II, bweyaggya omukono mu ngabo.
Baalaba nga omuto Oyo Nyimba, muganda we Ssebunnyabwamusota Mutebi y'alina okufuuka omukuza we mu by'obuwangwa, era yamukwasibwa mu mwaka gwa 1995 ng'aweza egy'obukulu 3 gyokka. Kitalo baabuwe yaseeredde n'amuva mu ngalo.
Omu ku bawewufu b'endowooza nnamulabye akunga banafu banne 'to report my page'
Mu mutima nenneebuuza nti ono omujega annwanyisa olw'enge effutwa n'effubitizi. Aliggyawa alinzirira mu bigere? Mu bwongo bwe obusaamusaamu bw'alina, takimanyi nti mu nsi waliyo abantu abazzikawo?"
Ntuusa okusiima kwange eri abo abannwanira entalo z'abaleekaanyi, ŋŋamba abawewufu mu kumanya ate nebakyawa okuyigirizibwa. Ssi nkola yange kwanukula buli omu, kubanga omukasusi w'ejjinja omutuufu. Tasaanidde kufaayo kumanya mbwa ki gyerikutte, wabula eyo gy'awulira eŋaŋala amanya yeeyo gyerikutte.
Omuntu atalina bumanyi emboozi ezimu zimulema okutegeera, ekitali kivve kubanga buli muntu n'ekipomo kye eky'obwongo. Wabula ekikyamu ate kwekwefuula ategeera ennyo mu butateegeera bwo.
Nzizeeyo ku mboozi. Nnina okunyolwa olw'okuviibwako Munnayuganda Oyo Nyimba, ku kunyolwa okwo nnyongerako ennyiike ey'okuba nti ewa Ssenkaaba aserengeteddeyo ku myaka emito. Gy'emyaka nange mwentemera, kyekiseera omuntu yenna obwongo webumweserera nga n'emiganyulo eri ensi ye mingi ddala.
Kyokka nze nkozesa buli mbeera okutunula ebuziba nenginokolamu essomo. Kiki buli muntu afa afuusenow'obunkenke nti n'okubika obubisi tumubika entegetege zitufamba nga tutya ebinaayogerwa okuva mu bantu ba bulijjo?
Lwaki tukkirizza abantu ba njogeziyogezi okutusinza amaanyi n'amagezi? Abantu baffe bangi bazze bafa, okubika mu butongole nekukandaalirira. Ate mulina okukimanya nti ku mulembe guno by'oyinza okukweka byebitono ennyo. Obubonero bweyolela mu bwengula.
N'abamu batuuse nakubateekawo kiguumaaza na kutimba bbula, so nga ku byuma kwebaali baatuuka dda e Kalannamu etagenda badda.
Aboogezi nno basigala batuwangula, kubanga empungu teryabire. Olwa ddaaki era n'omubika. Efuuse nkola wano, naye nkyamu ddala. Obeera ng'aliko ky'okukuma abantu obutakimanya naddala ku nfa y'omuntu. Tusaana twetereeze, tujjakulowoozesa abantu endowooza enkyamu olw'enkata yaffe ey'ebintu.
Omuntu bw'aggwebwako akatazi mubike nga tokankaanirira ensi emanye kubanga okufa kwa bulijjo tekwakajja nga Covid -19. N'omulwadde ssiraba lwaki okweka obulwadde bwe, tegeeza bannansi mu ntegeeza ey'ekitiibwa nti omuntu waffe yafunamu embeera bw'eti. Naye olw'ebyobufuzi ebyatusenkenya nga tebirina na kirungi kya nnyo. Byayonoona buli kintu wano, ate n'abali mu bifo ebivunaanyizibwa nebatiitiira nnyo. Obuwanguzi nebuddayo ew'abantu ba njogeziyogezi.
Ebyange tebisaanamu bunafu bwa mutwe. Mbikomezza awo nenkwata mu lw'engabi nneddire ewange nkajjale nga Kamuje ku malaalo weeraba.
YENZE SSEKANYUMIZA AMANSA BWINO