
19/07/2025
Bannakibiina ki Revolutionary People's Party balabudde ekisinde ki Patriotic League of Uganda (PLU) ku kukozesa akabonero k'empologoma nti bakikomye mbagirawo kubanga ssikaabwe. Aba Revolutionary People's Party bagamba akabonero ako kaabwe bwoya era batiisizzatiisizza okutwala ensonga zino mu mbuga singa aba (PLU) tebakeesonyiwa. Bano era baagala akakiiko k'ebyokulonda kaggyewo akakwakkulizo k'ekitongole ky'ebigezo ki UNEB okukakasa empapula z'obuyigirize ez'abantu abavuganya ku bifo by'obukulembeze nga bagamba zirina kutwalibwa butereevu eri akakiiko.
!
!