Sseke fm 107.8

Sseke fm 107.8 The big Radio station that broadcast in more than three languages Luganda English one radio station

Omumyuka asooka owa ssaabaminisita era Minisita w'ensonga za East Africa Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga atongozza empaka...
21/09/2022

Omumyuka asooka owa ssaabaminisita era Minisita w'ensonga za East Africa Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga atongozza empaka zabakyala abanene eziyitibwa “Miss Curvy” ezaayogeza abantu obwama mu kiseera by’eyali minister w’ebyobulambuzi Godfrey Kiwanda Ssuubi.
Ng’ayita ku kibanja kye ekya Facebook Kadaaga agambye nti ku luno empaka zongeddwamu ebirungo ne zigaziyizibwa, musuubirwamu abakyala okuva mu East, West ne South Africa.
Ezasembayo zawangulwa Belinda Nansasi.
Bwewataabeewo nsonga ezigaana kugenda mu maaso zakuberawo nga 25 November omwaka guno.

Olunaku olwaleero eggwanga Uganda lijjukira Benedicto Kagimu Mugumba  Kiwanuka ng'ono yeyali ssaabaminista wa Uganda eya...
21/09/2022

Olunaku olwaleero eggwanga Uganda lijjukira
Benedicto Kagimu Mugumba Kiwanuka ng'ono yeyali ssaabaminista wa Uganda eyasokera ddala, yali mukulembeze wakibbiina Kya Democratic Party era nga yali omu kubantu abakulembera Uganda okuva mu kaseera k'obufuzi bw'amatwaale okutuuka ku independence.

Ttiimu y'eggwanga ey'omupiira eya Uganda Cranes eri mu ggwanga lya Libya. Eno egenda kuzannya eggwanga lya Libya olunaku...
21/09/2022

Ttiimu y'eggwanga ey'omupiira eya Uganda Cranes eri mu ggwanga lya Libya. Eno egenda kuzannya eggwanga lya Libya olunaku olwaleero mu kisaawe Kya Benina Martyrs Stadium mu kibuga kya Benghazi ssaawa 2 ezakawungeezi.

Agaffa mubulemeeziJakana Nadduli mutabani wa munnansiko Hajji Abdul Ndduli atuusiddwa ku kkooti e Luweero okuwulira okus...
21/09/2022

Agaffa mubulemeezi
Jakana Nadduli mutabani wa munnansiko Hajji Abdul Ndduli atuusiddwa ku kkooti e Luweero okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa.
Jakana yaggulwako emisango gyokukozesa obubi omutimbagano, okukuma omuliro mu bantu n’emirala.
Hajji Nadduli n’amaziga gaamuyunguka ng’alaajanira munywanyiwe era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni amuddiremu, ajjukire gyebaava ayimbule mutabani we.

Ababaka ku kakiiko ka Parliament akakola ku by’obusuubuzi nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Hon Mwine Mpaka balambudde...
20/09/2022

Ababaka ku kakiiko ka Parliament akakola ku by’obusuubuzi nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Hon Mwine Mpaka balambudde ku kibangirizi ky’amakolero e Kapeeka mu Nakaseka.

Bano balambuziddwa minister omubeezi owabamusiga nsimbi Evelyn Anite wamu ne Gen Salim Saleh.

Anite ategeezezza nti enteekateeka y’okuzimba amakolero mu Kapeeka Industrial Park etambula bulungi nga kati amakumi abiri gakola kinnawadda.
fm updates.

Baganda ba pulezidenti wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine  bamwaniriza nga yakadda okuva e Ukraine, Italy n'ensi endal...
20/09/2022

Baganda ba pulezidenti wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine bamwaniriza nga yakadda okuva e Ukraine, Italy n'ensi endala gyabadde.

Wegendereze nnyo nga tonnalinnya bodaboda ekuyingiza mu kibuga Kampala okutandika ne leero.Abakulu bagamba nti abateewan...
19/09/2022

Wegendereze nnyo nga tonnalinnya bodaboda ekuyingiza mu kibuga Kampala okutandika ne leero.
Abakulu bagamba nti abateewandiisa tebakkirizibwa mu kibuga.

Arsene Wenger agamba Arsenal esobola okuvugannya n'ewangula ekikopo kya Premier League sizoni eno. Obudde buno y'ekulemb...
15/09/2022

Arsene Wenger agamba Arsenal esobola okuvugannya n'ewangula ekikopo kya Premier League sizoni eno. Obudde buno y'ekulembedde table naye osuubira Wenger mutuufu?
3:00pm

Abakulu mu kibiina kya National Unity Platform nga bakulembeddwamu Ssaabawandiisi w’ekibiina David Louis Rubongoya baddu...
15/09/2022

Abakulu mu kibiina kya National Unity Platform nga bakulembeddwamu Ssaabawandiisi w’ekibiina David Louis Rubongoya badduukiridde abantu b’e Kaseese abaakosebwa amataba agaabalumba ssabbiiti ewedde mwebaafiirirwa abantu n’ebintu.
Bano okusinga badduukiridde abatuuse b’e ggombolola y’e Rukoki abaasinga okukosebwa omwali n’okufiirwa abantu 16.
Babadduukiridde n’obuyambi okuli emifalizo, bulangiti, ebbaafu, obuwunga, ssukaali n’ebirala.
Rubongoya ku lw’ekibiina asuubizza okwongera okuyamba abantu bano mu mbeera eyeetaagisa era esoboka.

Olwaleero nga 15 September, ge mazaalibwa ga President wa Uganda Ssaabalwanyi Gen (Rtd) Yoweri Kaguta Museveni Tibuhabur...
15/09/2022

Olwaleero nga 15 September, ge mazaalibwa ga President wa Uganda Ssaabalwanyi Gen (Rtd) Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa.
Yazaalibwa nga 15 September 1944, ng'olwaleero omukulu akoonodde emyaka 78 be ddu.
Twegatteko tumuyozeeyoze.

Emotoka ya Martha Kay / Entertainer eyabibwa gyebuvudeko ezuliddwa era nedizibwa mikono gye agamba mwalimu trucking syst...
14/09/2022

Emotoka ya Martha Kay / Entertainer eyabibwa gyebuvudeko ezuliddwa era nedizibwa mikono gye agamba mwalimu trucking system yeyamuyambye

Ono oluyimba lwa sheebah baby nkwata bulunji alabika alwagala nnyo
14/09/2022

Ono oluyimba lwa sheebah baby nkwata bulunji alabika alwagala nnyo

Address

Kiwoko
Kiwoko

Opening Hours

Monday 09:00 - 17:00
Tuesday 09:00 - 17:00
Wednesday 09:00 - 17:00
Thursday 09:00 - 17:00
Friday 09:00 - 17:00
Saturday 09:00 - 17:00

Telephone

+256754524143

Website

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when Sseke fm 107.8 posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Contact The Business

Send a message to Sseke fm 107.8:

Share

Category