Ennamula y'Obusiraamu

  • Home
  • Ennamula y'Obusiraamu

Ennamula y'Obusiraamu Okutegeera Eddiini ey'omunda, n'emisomo emisaale mu kusitula amadaala.

ENKOLA EY'OKUVUGANYAEddiini ezze ekula mu ngeri eno, era kisoboka eri oyo awangadde emyaka 20 okufuna empeera ezenkana o...
20/07/2023

ENKOLA EY'OKUVUGANYA

Eddiini ezze ekula mu ngeri eno, era kisoboka eri oyo awangadde emyaka 20 okufuna empeera ezenkana oba ezisinga ku z'oyo eyawangaala emyaka 1,000 ng'ensi etandika. Katonda Omwenkanya yassaawo amakubo agatali gamu okusobola okuggusa kino:

✪ Okukubisibwa: Nga kiri ku bantu ab'omulembe guno gwokka, ebiva mu kirungi ekiba kikoleddwa byeyongera okusinziira ku ssuubi ery'okusasulwa Allah (Niyya), awatali kutunula ku bunene bwakyo. Wabula ekibi tekikubisibwamu.

✪ Okugezaako okwonoona tekibalwa: Muno mwe muli endowooza enkyamu n'enteekateeka zonna ez'okukola ekibi. Mu Hadiithil Qudsi, Katonda yalagira bamalayika abavunaanyizibwako nti;

إِذَا أَرَادَ عَبْدِي أَنْ يَعْمَلَ سَيِّئَةً، فَلَا تَكْتُبُوهَا عَلَيْهِ حَتَّى يَعْمَلَهَا
“Omuddu wange bw'agezangako okukola ekisobyo, temukiwandiikanga okutuusa nga akikoze...” (Yeegattibwako Abamanyi)

✪ Okusonyiyibwa ennyo: Ne bwe kuba kunenya mutima oluvannyuma lw'ebyo ebiba tebigenze bulungi, okusabira Nnabbi n'ebintu ebiyinza okulabwa nga ebitono — bimu ku bisonyiyisa. Kino kiyitirivu okusinga bwe kyali edda olw'obumpi bw'ebiseera eby'obuwangaazi bwaffe.

ENGERI EBIYUNGO GYE BIRIWAAMU OBUJULIZINga n'Enkomerero tennatuuka, waliwo obubonero obwateekebwaawo Omutonzi okusobola ...
29/09/2022

ENGERI EBIYUNGO GYE BIRIWAAMU OBUJULIZI

Nga n'Enkomerero tennatuuka, waliwo obubonero obwateekebwaawo Omutonzi okusobola okwolesa kyennyini ekiribaawo mw'ebyo ebisomesebwa. Mu Kitabo kye Ekitukuvu, Allah atutegeeza nti:

الْيَوْمَ نَخْتِمُ عَلَى أَفْوَاهِهِمْ وَتُكَلِّمُنَٓا أْدِيْهِمْ وَتَشْهَدُ أَرْجُلُهُمْ بِمَا كَانُوْا يَكْسِبُوْنَ ⁠۝
"[Tuligamba kw'olwo nti] olwaleero tujja kuzibikira emimwa gyabwe, gyogere Naffe emikono gyabwe era gajulire amagulu gaabwe kw'ebyo bye baakolanga." (Yaa-Siin, 36:65)

Ng'oggyeeko okwasimula, okukolola, okulogootana — n'ebintu ebirala ebijja ku buwaze; eriyo ebintu bingi ebikolebwa awatali kubyagala. Bwe luba nga olubuto lusobola okuwuuma n'amagumba okuvaamu eddoboozi, tekirilobera na biyungo okwogera.

Obutakoma ku Bamalayika abawandiika emirimu, abajulizi abalisookerwako b'ebo abatambula n'omuntu buli w'alaga ebiyungo, b'atalibaako na buyinza kw'olwo. Kale Omukkiriza aba asaana okuba omwegendereza mu buli ky'akola.
Ibraheem Ahmad Ntakambi II

OKUTONDA SSI KWA NNAKU 6 ZOKKA – SSAAYANSI WA QUR'AN OW'OMUNDAMu Ssuula al-Hajj, 22:47, Allah agamba:وَاِنَّ يَوَمًا عِن...
12/09/2022

OKUTONDA SSI KWA NNAKU 6 ZOKKA – SSAAYANSI WA QUR'AN OW'OMUNDA

Mu Ssuula al-Hajj, 22:47, Allah agamba:
وَاِنَّ يَوَمًا عِنْدَ رَبِّكَ كَأَلْفِ سَنَةٍ مِمَّا تَعُدُّوْنَ
"...era mazima olunaku lumu mu maaso g'Omulezi wo, lulimu emyaka lukumi mu mbala yammwe."

Kisomesebwa nti Katonda yateekawo eggulu n'ensi (planets) mu nnaku mukaaga. Wabula, tusaanye okukimanya nti embala y'ebiseera bulijjo eyawukana okusinziira ku bunene bw'ekintu. Okugeza, olunaku lumu ku ssengendo Jupiter luba luwanvu okusinga olw'ensi Earth [kwe tuli], kubanga ebiseera bya Jupiter bitambula kasoobo olw'obunene bwayo.

Awatali kuwandiika Ayah zonna olw'obugazi bw'ensonga eno; ebiseera bya Allah abibala akozesa Ntebe ye, Arsh — eyo ennene n'okusinga zissenngendo zonna nga zigattiddwa. Bwe tugatta obujulizi obulala ku Ayat gye tutandisizza, tulaba nti olunaku lumu mu Jjana oba mu Muliro lujja kwenkana emyaka 1000 mu mbala y'egyaffe. Wabula olw'okutonda lwenkana ki?

Bwe tutemaatema emyaka obuwumbi obusukka mu 13 mu bitundu 6 okuva ku ntandikwa y'okutonda nga Bannassaayansi bwe bakirambika; kirabwa nti ensi yaffe efunako ebitundu 2, n'ebina ebisigadde, teyaliiwo. Ne Hadiith ziraga nti ensi yaffe yatondebwa mu nnaku 2 kw'ezo omukaaga Allah mwe yatondera n'eggulu.

Wadde nga olunaku lw'omu Jjana lwenkana emyaka gyaffe 1000, mu ky'okutonda, olunaku ewa Allah lulimu emyaka gy'okunsi obuwumbi obusukka mu bubiri; n'akatikitiki ke kenkana emyaka gyaffe 27,000. Era mu mbala Ye, tukyali mu lunaku lwa mukaaga, n'olw'omusanvu lunaatera — OLW'ENKOMERERO!

Ibraheem Ahmad Ntakambi II

LWAKI OLUMU ABAFUMBO BASSIBWAKO ENSALO?Lwakutaano | Shawwaal (Gwakkumi) 26, 1443AHBitwala eddakiika 1½Wadde nga ssi bwat...
27/05/2022

LWAKI OLUMU ABAFUMBO BASSIBWAKO ENSALO?
Lwakutaano | Shawwaal (Gwakkumi) 26, 1443AH
Bitwala eddakiika 1½

Wadde nga ssi bwatteeka, obufumbo bubalwa mu bikolwa by'Obusiraamu eby'okutendereza era buli kibubaamu kivaamu empeera.

Y'ensonga lwaki n'abavubuka bakubirizibwa okubweyunira ku myaka emito. Katonda yassaawo ebbeetu eri abafumbo okusisinkana mu kaseera we baba bakkaanyirizza:

نِسَآؤُکُمْ حَرْثُ لَ٘کُمْ فَأْتُوا حَرْثَکُمْ أَنَ٘ی شِئْتُمْ
"Abakyala nnimiro zammwe (abaami); kale muzeesogge wonna we mwagalira" (al-Baqara 2:223)

Wabula ekibuuzo kya leero kiri nti, lwaki ebikolwa bino tebikkirizibwa mu kusiiba ne mu kukola Hijja, era ne biba nga bitta Ibaadah ezo?

Eky'okuddamu kigeraageranyizibwa ku mmere eyeetaagibwa buli omu ate buli kaseera. Olw'okulaga obwewombeefu obwaddala ku bintu ebitambuza obulamu, Katonda yassaawo envumbo okukakasa abamutya.

Nga tusemberedde omwezi gwa Hijja, kaba kaseera kagere wabula nga ky'ekinyusi ky'ebibala ebitakoma. Kuba kwegumya leero, ku lw'okujaguza okw'enkya.

Ibraheem Ahmad Ntakambi

SITAANE ZONNA ZISIBWA MU KISIIBO? NEDDA! SOMA PPAKA GYEBIGGWEERAWaliwo yirimu etera okwesigalizibwa Abayivu mu Ddiini ol...
01/04/2022

SITAANE ZONNA ZISIBWA MU KISIIBO? NEDDA! SOMA PPAKA GYEBIGGWEERA

Waliwo yirimu etera okwesigalizibwa Abayivu mu Ddiini olw'okubanga eba nzibu ya kunnyonnyola, oluusi nga beewaza abantu okufuna ebyekwaso.

Mu bigambo bya Nnabbi Muhammad ﷺ, waliwo ebigamba nti:
إِذَا دَخَلَ رَمَضَانَ... وَسُلْسِلَۃِ الشَ٘یَاطِ‍‍یْنِ
"Bwe guyingirawo [omwezi gwa] Lamanzaane... ne zisibwa [ku njegere] zisitaane" (Bukhaari, Mus-lim).

Bwe twetegegereza Hadiith eyo, temuli kagambo کُلُ٘ (zonna [sitaane]). Weebuuze, lwaki olumu wandisigala nga owulira okukemebwa ng'ate kiseera kya kusiiba?

Mu Ssuula an-Naas, 114:4, waliwo busitaane obwogerwaako nga buno butondebwa bwekutte ku buli mutima gwa muntu omuli ne Bannabbi. Bwali bwana bwa kabaka wa zisitaane, Ibliis — nga buyitibwa Khannaas (Min Sharril Was-waasil 'Khannaas').

Tujja kwongera okukuwa ebyafaayo bya busitaane buno mu Post zaffe ezinaddirira. Okujjukiza: Okusiiba kukakafu ku buli Mukkiriza, kale tukwagaliza Ramadhan ey'emikisa!

Ibraheem Ahmad Ntakambi

ENKIZO Y'OMUKYALAWaliwo abagenda babuusaanya nti Obusiraamu busosola abakazi nga na kino kiva ku kuba nti tebakkirizibwa...
08/03/2022

ENKIZO Y'OMUKYALA
Waliwo abagenda babuusaanya nti Obusiraamu busosola abakazi nga na kino kiva ku kuba nti tebakkirizibwa kusaaza. Nga tetunnagenda wala, ekyo kibaawo lwa kukuuma kitiibwa kyabwe — nga ne mu byafaayo tebangayo Nnabbi mukazi okuggyako nga mufere.

Okuva ku Adam; awataali mukyala, ensi yandibadde kyangaala. Ku mulembe gwa Yisa, tewandibadde kwakayakana. Ne ku mulembe gwa Muhammadi (emirembe gibe ku bonna), Eddiini eno oba oli awo teyandisaasaanye.

Teri nzikiriza eragira kwagala maama ebitundu 75% nga Busiraamu. Ne mu bivunaanwa ku basajja, ekitonde ekikazi kiri ku mwanjo. Buli omu asaana okujaguza okubaawo kw'abakyakala, kubanga n'emize egyaava mu bazungu nga bavumbula Africa — gyasibuka mu butajja wadde na mukyala — kyokka nga Eddiini ya Allah egivumirira.

Mu kaseera kano, abakazi balwanira balwanire mu Buyindi olw'okubattanga emyaka nga 200 egyayita kyokka kikyabakosa. Eri ow'amagezi ag'ewala, tekikutwalira kadde kulowooza ku nsonga lwaki Abawarabu baagala bawala baakuno, kubanga ekyali mu India nayo kyaliyooko.

Olw'okubanga waliwo enjawulo y'okuba Omuwarabu n'Omusiraamu, tekitulobera kwogera mazima nti abamu bakwatirwaayo. Abakyala ttaala, w'etali ensi ebuutikirwa ekizikiza!

Ibraheem Ahmad Ntakambi

WUUNO NNABBI EYAKOLA OBUWUNDOMu bubonero bw'Omubaka Yeesu obukuukuutivu, mwalimu okuba nga ye muntu eyakola obuwundo — k...
07/03/2022

WUUNO NNABBI EYAKOLA OBUWUNDO
Mu bubonero bw'Omubaka Yeesu obukuukuutivu, mwalimu okuba nga ye muntu eyakola obuwundo — kyokka nga kino tekitera kwogerwako olw'ensonga nti Kulaane yakiyita ku mabbali.

وَإِذْ تَخْلُقُ مِنَ الطِ٘یْنِ گھَیْئَۃِ الطَ٘یْرِ بِإِذْنِی، فَتَنْفُخُ فِیْھَا تَکُوْنُ طَیْرًا بِإِذنِی
"Era jjukira (Isa) bwe wakola okuva mu bbumba, ekintu ekyefaananyiriza ekinyonyi ku lw'Okusalawo Kwange (Katonda); n'okifuuwamu ne kifuukira ddala nga ekinyonyi ku lw'Okusalawo Kwange..." [al Maa-ida, 5:110].

Mu nnamula y'Obuyisiraamu, obuwundo buli Haraam okubaako n'ekintu kye bukozesebwa — okugeza, okubulya; ssi kaakuba nga eriyo ababulya. Kino kitonde ekijjudde obusagwa era kisaanye okwewalibwa, okuviira ddala ku bikivaamu.

Obuyinza bwa Katonda, nga n'ebisinga yabikola okulaga amaanyi ge wabula abasinga obungi ne batamukkiriza — wazira ne batenda oyo gwe yasiimanga okussaako obubonero bwe. Mu byonna, asigala ye Muyinza era Omulunngamya.

Ibraheem Ahmad Ntakambi

ENGERI OBUSIRAAMU GYE BUKYUSIZZA TEKINOLOGIYANg'oggyeeko eky'okulyowa emyoyo, waliwo engeri Eddiini ya Katonda Omu gy'ez...
04/03/2022

ENGERI OBUSIRAAMU GYE BUKYUSIZZA TEKINOLOGIYA

Ng'oggyeeko eky'okulyowa emyoyo, waliwo engeri Eddiini ya Katonda Omu gy'ezze ekyusa ensi, wabula ku luno tuli baakutunula ku nsonga bbiri zokka;

1. Obuyonjo
Okuva edda, abantu omuli n'abanene abeeyonjaako abalara we balaba — tebaafanga ku kyakutwala mazzi mu buyu; kyokka nga kino kikontana n'amateeka g'Obuyisiraamu.

Mu Uganda, tekwali kuwubisibwa Ekitongole Ky'ebya Kazambi okuweebwa ogw'okuvunaanyizibwa ku mazzi (National Water & Sewerage Corporation).

Bino byava mu ssaayansi ow'omunda eyazuuka mu biva mu buteetukuzisa mazzi nga n'oyo afumintiriza amanya ekiddako ne bwe tuba tetukikoolobezza.

2. Okubala
Olumu bangi beebuuza ekireetera ssizoni okukyuka. Ng'omwaka gw'Ekizungu guggwaako, lwaki bwanguwa okuziba?! Eky'okuddamu kiri nti, kuba kujingirira bibalo bya ntambula y'enjuba n'omwezi. Ebisingawo bisange ku Page yaffe, Emmyanso; The Illumination.

Wabula mu Ddiini eno, waliwo obubonero, okugeza; singa omwezi (moon) guboneka nga olwala lw'engalo, tumanya nti omupya (month) guyingidde, bwe gwesalamu, tumanya nti tugutuuse wakati; ekitali walala.

Kati nno embala esinziirira ddala ku bubumbwa (Geography) esomwa mu kimpoowooze — kwe kuwulira nti "mulindeeko okusiga wadde nga kiseera kya nkuba". Okkiriza Katonda? Gamba nti:

الْحَمْدُ لِلٰ٘ہِ عَلَی نِعْمَۃِ الْاِسْلَام
"Amatendo ga Allah olw'ekyengera ky'Obusiraamu"
Ibraheem Ahmad Ntakambi

Address


Alerts

Be the first to know and let us send you an email when Ennamula y'Obusiraamu posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Contact The Business

Send a message to Ennamula y'Obusiraamu:

Shortcuts

  • Address
  • Telephone
  • Alerts
  • Contact The Business
  • Claim ownership or report listing
  • Want your business to be the top-listed Media Company?

Share