BBS Terefayina - Eyaffe

BBS Terefayina - Eyaffe Buganda Broadcasting Service is the official Broadcasting Television of Buganda Kingdom in Uganda.
(1)

Abatuuze n’abakulembeze mu ggombolola ye Makindye balaajana olw'ebizimbe bya kalina ebibayiwamu kazambi. Ssentebe w'ekya...
14/07/2025

Abatuuze n’abakulembeze mu ggombolola ye Makindye balaajana olw'ebizimbe bya kalina ebibayiwamu kazambi.

Ssentebe w'ekyalo ki YTK Zone Grace Emmanuel Bubaale agamba nti ssinga endwadde enkambwe egwa mu kitundu kiggya kuba kizibu kya kugiziyiza olwa kazambi ono.

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Banda mu ggombolola ye Nakisunga ekisangibwa mu disitulikiti ye Mukono, abazigu ab...
14/07/2025

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Banda mu ggombolola ye Nakisunga ekisangibwa mu disitulikiti ye Mukono, abazigu abatannategeerekeka bwebalumbye omuvubuka abadde yakeewandiisa ku Ssettendekero wa Kyambogo nebamutta.

Atemuddwa ye Brian Kasimagwa kyokka nga abalala abatemuddwa bali mu ku pooca na bisago okuli ne Ssentebe w’ekyalo kino.

Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu asabye Bannayuganda okwogeza eddoboozi eryawamu ku basibe abavundira mu ma...
14/07/2025

Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu asabye Bannayuganda okwogeza eddoboozi eryawamu ku basibe abavundira mu makomera agenjawulo nga baakwatibwa ku misango egyekuusa ku by’obufuzi.

Kyagulanyi okwogera bino abadde agenze ku kkomera e Kigo okulambula ku basibe abaggalirwa ku misango egyekuusa ku by’obufuzi.

14/07/2025

Omukululo gwa George Kanyeihamba, Bannamateeka Batenderezza olw’Obuweereza.

Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akudaalidde Bannakampala okutembeetanga bannabyabufuzi abavuganya gavumen...
14/07/2025

Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akudaalidde Bannakampala okutembeetanga bannabyabufuzi abavuganya gavumenti nebabakozesa ng'eddaala okulinnya nebagaggawala ng'abalonzi beerya nkuta.

Pulezidenti Museveni okwogera bino abadde alondoola enteekateeka ya PDM mu Kibuga Kampala , ng’eno ategeezeza bannakibuga nti ekikyasibye ebizibu mu bitundu byabwe, kwekukukuta ne bannabyabufuzi abeeyagaliza bokka nebalemererwa okukwatagana ne gavumenti okukulaakulanya Kampala.

14/07/2025

| Joshua Musaasizi Nsubuga ne Milly Nambolanyi Lutalo

14/07/2025

PFF Ewadde Essiga Eddamuzi Nsalessale, Baagala Kkooti Eyimbule Besigye ne Lutale.

14/07/2025

Biibino Ebyafaayo bya George Kanyeihamba , Ajjukirwa nnyo Okusazaamu Obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni.

14/07/2025

Kitalo! George Wilson Kanyeihamba Afudde, Afiiridde mu Ddwaliro e Nakasero.

Essaawa yeno tukutuuseeko ebikulu ebibadde mu lunaku mu mawulire   ne Sandra Nabaggala ku ssaawa 1 ey'akawungeezi
14/07/2025

Essaawa yeno tukutuuseeko ebikulu ebibadde mu lunaku mu mawulire ne Sandra Nabaggala ku ssaawa 1 ey'akawungeezi

14/07/2025

| Jonathan Jaxta ne Tashi Hubby

Pulezidenti Museveni agguddewo akatale ke Busega mu butongole nga wano wasinzidde nakuutira bannayuganda okukomya okwetu...
14/07/2025

Pulezidenti Museveni agguddewo akatale ke Busega mu butongole nga wano wasinzidde nakuutira bannayuganda okukomya okwetuulako wabula bakole nnyo basobole okugaggawala nti olwo ekigendererwa kya gavumenti ye lwekijja okutuukirira. Museveni ategeezezza nti ayagala abantu benyigire mu busuubuzi obwa buli ngeri nga tebeeganya.
Pulezidenti awerekeddwako mukyala we era minisita w'Ebyenjigiriza n'Ebyemizannyo, Janet Museveni nga baaniriziddwa abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo.

Address

Bukasa

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when BBS Terefayina - Eyaffe posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Share

Category