Radio Simba Ffemwe Mweffe

Radio Simba Ffemwe Mweffe Radio Station based in Kampala-Uganda and broadcasting in Luganda. On air since June 1998. With transmitters in Kololo and Mudende on 97.3 FM and 92.1 FM.
(348)

Radio Simba is a private commercial radio station based in Uganda with a very large fan base in central Uganda. Our page now brings this unique entertainment to our fans in the diaspora and is a channel through which we can listen to, and engage, each other.

Bammemba ba National Executive Council- NEC aba National Resistance Movement olwaleero basisinkanye Pulezidenti Yoweri K...
23/08/2025

Bammemba ba National Executive Council- NEC aba National Resistance Movement olwaleero basisinkanye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu State House Entebe.

Abaana tebasaaga byebabagobezza babizizza!
23/08/2025

Abaana tebasaaga byebabagobezza babizizza!

Omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Hon Shamim Malende akyalid...
23/08/2025

Omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Hon Shamim Malende akyaliddeko ku Taata wa Mubaka munne Betty Nambooze Bakireke, Mzee Kayongo mu Ddwaliro gyali mukufunira obujanjabi.

Olunaku olwaleero National Executive Council eya National Resistance Movement yakutuula mu State House Entebe ng'Olukiik...
23/08/2025

Olunaku olwaleero National Executive Council eya National Resistance Movement yakutuula mu State House Entebe ng'Olukiiko lwakukubirizibwa Ssentebe w'Ekibiina H.E Yoweri Kaguta Museveni okukubaganya ebirowoozo wamu n'okuyisa ebiteeso ebya Central Executive Committee (CEC).
Ebiteeso ebinayisibwa NEC byakutwalibwa mu Lukiiko lwabonna wiiki ejja okuyisibwa.

22/08/2025

Omusunsuzi w'ensonga Ntambi asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 28-August-2025.

Katikkiro Charles Peter Mayiga avuddeyo ku mukutu ggwe ogwa X neyemulugunya ku ngeri abaagala okwesimbawo ku kifo ky’Omu...
22/08/2025

Katikkiro Charles Peter Mayiga avuddeyo ku mukutu ggwe ogwa X neyemulugunya ku ngeri abaagala okwesimbawo ku kifo ky’Omukulembeze w’Eggwanga kyebakifuddemu ekyolejeregerero nga bataddemu ne katemba.
Katikkiro agamba nti ekifo kya Pulezidenti kyadivuganyiziddwako abantu abalina ebisaanyizo; nga balina okumanya, obusobozi bwokugonjoola ensonga okusobozesa Eggwanga okuyitimuka wamu n’enguga ey’amateeka mu Uganda. Ayongeddeko nti olwebeeya lw’abantu abali eyo mu 190, ekigendererwa kyakunabuula makulu ga byakulonda nga kino kyadiviirako abantu obutalonda.

Okwewandiisa mu Ngule kuli kumpi okufundikirwa yanguwako wano e Bukoto ku Simba n'endukusa yo ku mugongo oleme kusubwa.D...
22/08/2025

Okwewandiisa mu Ngule kuli kumpi okufundikirwa yanguwako wano e Bukoto ku Simba n'endukusa yo ku mugongo oleme kusubwa.

Ddamu kino ensi ekutende:
Olulalagala oluto luyitibwa mu lulimi lwa balimi?

22/08/2025

Omubaka akiikirira Nnyendo - Mukungwe Hon. Mathias Mpuuga Nsamba ngannyonyola ku kasiimo kebagamba nti yakegemulira. Ono ajjuliza ku eyaliko omumyuuka wa Sipiika, oluvannyuma nafuuka Sipiika era nabeerako omumyuuka w'Omukulembeze w'Eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi gwagamba nti ye afuna obusiimo bwamirundi 3!

22/08/2025

Okuwa ensala ku kusaba okwokweyimirirwa okwa Bannakibiina kya National Unity Platform okuli; Eddie Mutwe. ne Achileo Kivumbi nga bano bali mu kkomera e Luzira tebaleeteddwa mu Kkooti e Masaka ne banaabwe Wakabi ne Gadafi bbo abaleeteddwa mu Kkooti kugenda mu maaso.

22/08/2025

Omumyuuka wa Ssaabaminisita asooka era Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z'Omukago gwa East African Community. Ono yaaganyi okuva mu lwokaano ku kifo ky'Omumyuuka wa Ssentebe wa National Resistance Movement - NRM Omukyala.

Bannamateeka ba Bannakibiina kya National Unity Platform nga bakulembedwamu Omubaka omukyala owa Disitulikiti y'e Kampal...
22/08/2025

Bannamateeka ba Bannakibiina kya National Unity Platform nga bakulembedwamu Omubaka omukyala owa Disitulikiti y'e Kampala Shamim Malende batuuse dda ku Kkooti e Masaka okulaba nti Bannakibiina kya NUP okuli Eddie Mutwe, Achileo, Gadafi ne Wakabi Smart Kkooti ebakiriza okweyimirirwa bayimbulwe ku kakalu kaayo.

Omubaka wa Nakawa West Munnakibiina kya National Unity Platform LOP Joel Ssenyonyi amalirizza olugendo lwokufuuka Munnam...
21/08/2025

Omubaka wa Nakawa West Munnakibiina kya National Unity Platform LOP Joel Ssenyonyi amalirizza olugendo lwokufuuka Munnamateeka oluvannyuma lwokumaliriza emisomo ku LDC era olunaku olwaleero erinnya lye liyingiziddwa mu kitabo kya Bannamateeka.
Bwoba wetaaga Munnamateeka akasimu akakwata mangu nnyo.

Address

Kampala
256

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when Radio Simba Ffemwe Mweffe posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Share

Category