21/06/2013
Okuttunka kwa Gen. David Ssejjusa (Tinyefuza) ne Pulezidenti Museveni kulinnye enkandaggo, Ssejjusa bw’asinzidde ku mukutu gw’amawulire ogwa BBC e Bungereza n’alumiriza eyali mukama we ng’ensi yonna ewulira nti obukulembeze bwa Uganda agenderera kubufuula bwansikirano.