
01/10/2025
Omumbejja Tina Walugembe akiikidde gavumenti ensingo olw’okwezza omusolo gwonna gwekungaanya mu gavumenti z’ebitundu kyokka negutadda okukola ku bintu ebiruma abantu okugeza okuzimba obutale , okukola enguudo embi n'ebirala. Walugembe asabye gavumenti ekwate omusolo oguva munisipaali ne diviizoni ezenjawulo gusigale mu bitundu bino ssente ziyambe abantu butereevu .