
08/05/2025
Omubaka wa Nyendo-Mukungwe, Mathias Mpuuga Nsamba, ategezeza nga bwagenda okuwawaabira omukulembeze we kibiina kya National Unity Platform Robert Kyagunyi Ssentamu Bobi Wine n'omubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana kubigambibwa nti bamuwayirizza olunaku lweggulo bwebadde no lukungaana lwa banamawulire ku kitebe kye kibiina wano Kampala.
Kigambibwa nti Kyagulanyi yayogedde ebigambo ebiyunga Mpuuga kukukwata n’okusiba omubaka Ssewanayana n’eyali omubaka wa Kawempe North, omugenzi Muhammad Ssegirinya.
!
!