16/07/2022
Tuvumilira ne Ssekuvumilira efujjo eryakoleddwa ku Tendekero ly’abayizi e Makerere elyaviiriddeko okuffa kw’omuyizi wa Uganda Christian University Bewatte Betungura.
Betungura abadde asoma mateeka ku UCU era nga awa Esuubi nti ajja Kugasa Uganda yona.
Tusaba ebibiina by’obufuzi okuyamba okulungamya emiti emito nti eby’obufuzi eby’efujjo tebiyamba okusinga ebyo eby’okulowooza nga mutwaala egwanga Mumaaso.
Tusaba Police ekole okunoonyereza okusaanidde ate ne University e Makerere eleme kukozesa mukisa guno kutyooboola Ddembe ly’abayizi mu Kulonda, Wabula ekole enteekateeka enungamu etabeeremu buvuyo abayizi basobole okulonda obukulembeze bwebaagala.