01/11/2025
Anyinimu Ssaabasajja Kabaka Asiimye okulabikako eri Obuganda leero e Nakivubo okulaba omupiira wakati wa Ssingo ne Buweekula.
Nkowoola Obuganda okujja mu bungi okukola ebintu 2 ebikulu; okwaniriza Omutanda n'okulaba omupiira, anti empaka z'Amasaza z'ezimu ku nteekateeka Maasomoogi ze yateekawo okunyweza Obumu mu Buganda.