CBS Emmanduso

CBS Emmanduso Radio y'Abavubuka Ab'Omulembe Omutebi
(4)

07/09/2026

Akakiiko k'eggwanga akalera eddembe ly'Obuntu Uganda Human Rights Commission - UHRC kaanirizza okusalawo Kwa gavunent okukugira abakungubazi okuva mu DR Congo okuyingira mu Uganda okwegatta ku Uganda okukungubagira Omukama Oyo Kabamba Nyimba Iguru IV IV okugenda mu maaso mu kikaalikye ekye Karuziika mu kibuga Fort Portal.
Crispin Kaheru Kamissona mu kakiiko kano agamba nti olw'obungi bw'abantu abeeyiwa mu kikaali ekyo, kyabuvunaanyizibwa nnyo okubatangira okusaasaana kw'ekirwadde Kya Ebola ekiyinza okuva e Congo gyekikyaali n'okutuusa olwaleero.

07/09/2026

Nga 11 September 2026 ku Hotel Africana ky’ekyeggulo kya Kaliisoliiso mwetunoonyeza ssente z’okumaliriza ekifo awanajjanjabirwanga abagudde ku bubenje kyetuzimba ku ddwaliro e Nkozi.
Jangu kino tikigguse ffenna.

07/09/2026

Program Ekyoto n'abayizi ba Good Times Infant school – Good Times Infant School - Kawaala

Abakulu mu ministry y’ebyentambula balabudde bannannyini bibanda bya mmotoka abapaaluusa ensimbi za Number plate endigit...
07/09/2026

Abakulu mu ministry y’ebyentambula balabudde bannannyini bibanda bya mmotoka abapaaluusa ensimbi za Number plate endigito n’ekigendererwa ky’okunyaga banna Uganda.
Bagamba nti gavumenti yassaawo ensimbi ez’essalira ku number plate nga ziri 714,300/= wabula nti waliwo gwebaagwikirizza ng’azitunda 850,000/=
Kati baagala abagula numberplates obutakkiriza nsimbi zisoba mu ezo ezaalagibwa.

Eddwaliro Muteesa II Health Centre IV e Busimbi Ssingo liwezezza omwaka ng’aliwa abantu ba Kabaka obujjanjabi obw’omutin...
07/09/2026

Eddwaliro Muteesa II Health Centre IV e Busimbi Ssingo liwezezza omwaka ng’aliwa abantu ba Kabaka obujjanjabi obw’omutindo ate nga sibwabuseere.
Obwakabaka bwakolagana n’eddwaliro ly’e Mengo okuddukanya eddwaliro lino.
Omumyuka w’omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Ahmed Lwasa asanyikidde nnyo enkola y’emirimu abaddukanya eddwaliro gyebakolamu.
Bamutegeezezza nti abantu abasoba mu 400 bebalyettanira bulu lunaku okufuna obuweereza omuli okukeberwa n’okujjanjabibwa amaaso, ssukaali, omusujja n’abakyala b’embuto okunywa eddagala.
Owek. Lwasa atambudde n’abamu ku baminisita ba Kabaka n’abamu ku bakiise mu lukiiko lwa Buganda.
Akubirizza banna Ssingo okwettanira olusiisira lw’ebyobulamu olutegekeddwa aba Ssingo Rotary Club ate era n’abasaba okweyuna Tubeere Balamu Yinsuwa.

07/09/2026

Abayingira okukuba eriiso evvannyuma ku muguta gw'Omukama Oyo, bateereddwako obukwakkulizo n'ebiragiro ebiggya.
Kati bonna abayingira tewali akkirizibwa kuyingira nga ssimu, gaalubindi n'essaawa.
Abakyala bagaaniddwa okuyingira n'obusawo obw'omungalo songa buli ayingira talina kuwuuba mukono mpozzi okugizingira emabega.

Centenary Bank ekugamba nti kati tokyalina kutindigga lugenda nti ogenda mu Bank, weeyune ku muliraano awo waliwo CenteA...
07/09/2026

Centenary Bank ekugamba nti kati tokyalina kutindigga lugenda nti ogenda mu Bank, weeyune ku muliraano awo waliwo CenteAgent.

Omusuuga Charles Kamurasi ne Omuhiikirwa Calvin Armstrong Rwomiire Akiiki enjawukana ezaali zibaluseewo basoose nebazizz...
07/09/2026

Omusuuga Charles Kamurasi ne Omuhiikirwa Calvin Armstrong Rwomiire Akiiki enjawukana ezaali zibaluseewo basoose nebazizza ku bbali basooke batabaaze Omukama Oyo.
Obubonero bwonna bulaga nti ababiri bano baakukkaanya.

Kitalo nnyo ekya Hafidh Ameir Hassan bba wa President wa Tanzania Dr. Samia Suluhu Hassan.Afiiridde mu ddwaliro lya Emil...
07/09/2026

Kitalo nnyo ekya Hafidh Ameir Hassan bba wa President wa Tanzania Dr. Samia Suluhu Hassan.
Afiiridde mu ddwaliro lya Emilio Mzena Memorial Hospital e Zanzibar ku myka 76.
Enteekateeka z'okumuziika zitandise e Kizimkazi mu Zanzibar.

Address

Bulange Mengo
Kampala
256

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when CBS Emmanduso posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Shortcuts

Share