CBS FM

CBS FM Laadiyo y'Obujjajja ey'Obwakabaka bwa Buganda. Eno ye Page yaffe entongole. Twegatteko.
(4)

Ekiriko; Londola Ensonga ne Dr Sam Kazibwe akyazizza Counsel Denis Bugaya,
10/09/2026

Ekiriko; Londola Ensonga ne Dr Sam Kazibwe akyazizza Counsel Denis Bugaya,

Omubiito Yoweri Komwiswa, Omubiito-katiRuth Nsemere Komuntale, Queen Mother Best Kemigisa n’Omubiito-Kati Elizabeth Baga...
10/09/2026

Omubiito Yoweri Komwiswa, Omubiito-katiRuth Nsemere Komuntale, Queen Mother Best Kemigisa n’Omubiito-Kati Elizabeth Bagaya, baddukidde mu kkooti enkulu e Fort Portal, bawakanya ebyasaliddwawo eggulo abaalangiridde Omubiito Edward Rukidi Kijanangoma ng’Omukama wa Tooro Omuggya.
Bawaabidde Omubiito Edward Rukidi Kijanangoma ne Omusuuga Charles Kayondo Kamurasi.

10/09/2026

Enteekateeka za Kaliisoliiso Dinner ziwedde, olunaku lwa nkya nga 11 September ku Hotel Africana & convention centre

10/09/2026

Luba Properties Ltd bakwanjulira estate yaabwe empya "Victoria ku luguudo lw'e Nkokonjeru. .

10/09/2026

Wulira obukulu bw'Obukama bwa Tooro mu byafaayo bya Uganda-Dr. Sam Kazibwe wamu Henry Mpinga.

10/09/2026

Ba boy child abakuba ekyeyo muwe ku baagalwa bammwe ssente za data.
.

Omukulembeze wa America JD Trump asuubizza sente za dollar ya America 5,000 nga mu za Uganda zenkanankana 19,206,200shs....
10/09/2026

Omukulembeze wa America JD Trump asuubizza sente za dollar ya America 5,000 nga mu za Uganda zenkanankana 19,206,200shs. Sente zino, azisuubizza buli Mumerica omukulu (Adult) Ssinga ekibiina kye ekya Republican kinaawangula akalulu akamanyiddwa nga “Midterm Elections” akabindabinda okubaawo mu November omwaka guno.

Bijjidde mu kaseera ng'ebibalo (opinion poll) ebifuluma mu America bilaga nti obuganzi bwe bugenze buserebera ddala mu bantu abamu mbu ntebwe esinze kuva ku lutalo lweyawakula ku Iran okusinziira ku kunoonyereza okuva mu ndowooza za bannansi mu America.
.
.

Omuntu omulala awanuse ku muti gwa ffenne n’afa!!Afudde ye Mikayiri Mazzi myaka 50 ow’e Bweyo mu Villa-Maria Kalungu Bud...
10/09/2026

Omuntu omulala awanuse ku muti gwa ffenne n’afa!!

Afudde ye Mikayiri Mazzi myaka 50 ow’e Bweyo mu Villa-Maria Kalungu Buddu, ng’ono abadde alinnye omuti gwa ffene okuwanula eby’okutunda.

Ebyembi, musajja watu alabika alinnye ku kati kakalu bwatyo n’awamattuka waggulu n’agwa n’akubawo ekifuba okusinziira ku batuuze era ng’afudde addusibwa mu ddwaliro e Villa-Maria erisangibwa e Kalungu mu Buddu.

Kinajjukirwa nti munnaku ntono nnyo zetwakakuba amabega era waliwo omulyoyi w’emyoyo “Omusomesa” w’ekisomesa ky’Abakatoliki Musomesa Lawrence Mulyawo eyawanuse ku muti gwa ffene n’agwa n’afiirawo, ng’ono yabadde alinnye kuwanulira Nte ze ffene e Buwama mu Mpigi.
.
.

Trump akagolomolo ke Hormuz ayagala kukatuuma linnya lye😳!Omukulembeze wa America JD Trump, ayagala erinnya ly’akagolomo...
10/09/2026

Trump akagolomolo ke Hormuz ayagala kukatuuma linnya lye😳!

Omukulembeze wa America JD Trump, ayagala erinnya ly’akagolomolo Strait of Hormuz likyuke, akagolomolo kano katuumibwe “Trump Strait”!! bino abitadde ku mukutu gwe ogwa Truth Social.

Bijjidde mu kaseera, ng'olutalo wakati wa America ne Iran lugendera ddala mu maaso nga bugolo era nga mukassera kano, tewali kabonero kwonna kalaga nti lunaazikira kubanga enjuyi zombiriri zikyaswakidde, America ebikompola Iran egiweereza nayo bw'egiddiza awatali kuzikiza!
.
.

Gino, gyegimu ku miko gy'ekiraamo ky'abadde Omukama wa Tooro Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV.  Wabula, Omubiito Amos ...
10/09/2026

Gino, gyegimu ku miko gy'ekiraamo ky'abadde Omukama wa Tooro Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV. Wabula, Omubiito Amos Musinguzi Omwogezi w'Ababiito akinogaanyizza nti

"Tugenda mu lukiiko okwekenneenya ekiraamo ky'Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV, naye tewali kyetugenda kukyusa ku kyetwasazeewo ku busika"
Omubiito Amos Musinguzi omwogezi w'Ababiito bwatyo bw'akinogaanyizza.
.
.

Address

CBS Fm
Kampala
256

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when CBS FM posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Shortcuts

Share

Category