04/08/2026
Bisimudwa kukibanja kya Ibrah K Mukasa Entanda Eri Yinginiya Acram Gumisiriza
Nkulamusiza Muganda Wange, Kansubire buli Kimu Kitambula nga bwewakibala.
Nsaba Onsonyiwe Okulwawo Okusibirira entanda mu bufumbo bw’oyingidde Olwa leero. Munange enaku zino nkwasaganya bingi nnyo, nina akalimu kenafuna ku Kizinga ekimanyidwa nga Prince Edward Isands naye eyo emboozi yalunaku lulala.
1. Putulu n’Okugumya Omugongo
Muganda wange abakyala munsi nga America, Canada, Bungereza ne Bulaya Okutwaliza awamu, ekibawasiza abasajja zibera Nsonga za Kawalampa Olusozi Nyamulipe, kubanga ebisera ebisinga babera balina enyonta y’Okuwalampa Olusozi Nyamulipe, era nga Kitegeza Mwami Acram olina Okutumya Putulu Okuva e Kampala kubanga olina okuwangalira mu Kisawe ekitono ennyo eddakika 30 – 45 buli Lusamba.
2. Obugoye Obukweka Omulalu
Wade nga mu Amerika mulina ebyuma eby’ozza engoye, naye munange sibuli lugoye nti ogenda Kukozesa ebyuma eby’ozza engoye. Obuwale bw’omukyala obw’Omunda olina okubukunya n’engalo, era nga abakyala kino ky’ongera okubagumya nti omusajja simusosoze mu Nsonga z’ebintundu bya Nyamulipe.
3. Obwerufu
Munange Nkwegayiridde bambi gezako nga bwosobola okubera omusajja omwerufu, mu nnyumba tebalondamu ssente, nasembayo okumanya nti olina Olukisakisa Olulondas sente mu nnyumba nga kw’otadde ne munsawo z’Abakyala, Abazungu bagala nnyo obwerufu. Mbu olinamu engalo, naye bambi nkwegayiridde kilwanyise nnyo nnyo.
4. Olugambo n’Enkwe
Kimanyidwa nti abazungu bebasinga okukola olugambo nga kw’otadde n’okubera n’Enkwe naye ekyewunyisa bambi tebagala muntu alina lugambo oba Omuli w’Enkwe. Nkwegayiridde nyamba buyambi nga mukwano gwo bambi omukyala tomugeya bambi.
5. Okutega Ekibaatu n’Okulingiza mu Haffu Petti
Ezimu Ku Nsonga ezakuzalira lennya e Kyadondo Mwalimu Okuteega ekibaatu ky’Omukono gwa Ddyo Oba Mu Luzungu Kyetuyita Okugaata Ebitundu ebifuyisa. Naye mu nsi z’Abazungu bwebanakukwata nga obaliga olwo nga omanya nti Kaweddemu.
Olina okukiteka mu bwongo n’omutima gwo nti Ofumbiddwa, Bakuwasiza , Ogenda Kutokosa Ddigobe, Ofusa Mukyala. Ogenda Kusigala nga Oyambala Bokisa za Ckecked, n’Empala naye mu butufu bw’ensonga gwemukyala. Obufumbo bwalema MC Kapale Kubanga yebuzabuzibwa Oba ye Mukyala oba ye Mwami, kale Olina okukiyingira nga Okitegedde nti gwe Maama mu Nyumba eyo.
Muganda wange w’esimye nti gw’ofunya aliko enyama tolinga mwami Ssemawere eyafumbirwa ow’emyaka 96 nga buli lwebagata ebitundu ebifuyisa nga abwatuka amagumba nga Pop Corn. Owuwo nalabye nga ssimukadde nnyo, wade nga ayinza Okukalubirizamuko Okumukyusa mun bulira nga mugezesa obukodyo bwa Nyamulipe.
Bambi Nkwegayiridde Tonoba, Kyoyingidde Kiringa Kiyungu Omuka nebwegweyongera bambi tokifuluma. Essanyu ly'Obufumbo Kuwa Mwami wo Kitibwa.
Nsigadde Nze Yibuulake Mukasa
Wano e Boston, Mu Kikanula