
20/07/2023
NE BW'ETONNYA GUMALA NE GWAKA
Abantu abagezigezi batera okutambulirako mu muzira n'ekigendererwa eky'okubuzaabuza enkulukuta y'amaziga gaabwe. Tebakoma kw'ekyo, wabula entambula yaabwe bagifuula ssomo okutegeerera ddala ababalowoozaako.
Nga mmunyeenyi bwe zeewenjeza amakubo omutambulira ebitangaala byazo mu bizikiza ebitagambika, embeera y'obulamu erina okututendeka okusigala nga tugenda n'ebyo ebinaatugasa ne bitufuula abasukkulumu era abeegombesa.
Ebisoomooza bisigala nga maddaala agaba gatemeddwa ku kasozi akava emugga, nga kwe kulina okulinnyibwa n'obwegendereza okusobola okusomoka n'emikisa egiba gyesundira mu bidomola bye tuba twetisse.
Mu mpola, kyaddaaki tweyongera mu maaso olwo ebiyitiddwamu ne bifuuka lufumo. Buli kadde, tulina kutunulanga awo wennyini we tusaana okussa ebigere kubanga okulobesebwa kimu ku biyinza okutusuula wakati mu basekerezi.