
24/09/2025
Akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga aka nga kakulembeddwamu Ssentebe waako Omulamuzi Simon Mugyenyi Byabakama, kafundikidde enteekateeka y'okusunsula n'okuwandiika abagenda okuvuganya ku bwa President mu kisanja kya 2026-2031.
Bano bali munaana nga bonna balina ebibiina by'obufuzi byebakwatidde bendera.
Bakutaandika okutalaaga eggwanga nga 29 okukuba kampeeyini oluvannyuma lw'okukkiriziganya ku ngeri y'okuzitambuzaamu.