GRAM TV

GRAM TV Contact information, map and directions, contact form, opening hours, services, ratings, photos, videos and announcements from GRAM TV, Film/Television studio, Mityana.

Nnamungi w'omuntu yeyiye mu Lubiri okubugiriza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II nga asimbula emisinde gy'amaz...
12/04/2026

Nnamungi w'omuntu yeyiye mu Lubiri okubugiriza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II nga asimbula emisinde gy'amazaalibwa ge egy'omulundi gw'e 13.

Zigenze okuwera ssaawa kkumi neemu kitundu nga bukya, abantu okuva mu bitundu eby’enjawulo nga batandise okuyingira olubiri lw'e Mmengo, olwo ne Kamalabyonna Charles Peter Mayiga n'abeyungako ku ssaawa emu ey'okumakya.

Nga zikunukkiriza okuwera ssaawa bbiri ez'okumakya, Nnyinimu, Ssaabasajja Kabaka atuuse mu Lubiri wakati mu mizira n'enduulu okuva mu nnamungi w'omuntu anekaanekanye mu bujoozi obwa kasaayi.

Beene ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Oweek Prof Twaha Kaawaase Kigongo Ssentebe w'enteekateeka z'emisinde gy'omulundi guno, Oweek Robert Sserwanga Ssaalongo Minisita w'Abavubuka Emizannyo n'Ebitone, Oweek Joseph Kawuki Minisita wa gavumenti ez'Ebitundu okulambula kwa Kabaka n'ensonga za Buganda ebweru, ne Kaggo Hajji Ahmed Matovu Magandaazi omwami w'Essaza Kyaddondo.

Nga tannasimbula baddusi, Katikkiro asoose kwanjulira Ssaabasajja Kabaka abagenyi ab’enjawulo ne bannamikago, era wano w'asinzidde n'ategeeza Beene nti abantu be bamalirivu okwekuuma mukenenya nga beesigama ku bubaka ye kennyini Beene bw'abawa.

Abakubirizza okwekuuma, bekebeze, bagendere ku biragiro by'abasawo, ate abavubuka beewale okwetaba mu bintu by'okwegatta kubanga ebirungi biri mu maaso.

Yeebazizza bonna abawagira enteekateeka z'obwakabaka era n'abakuutira obutakkirizanga mu muntu yenna abajja ku Ssaabasajja Kabaka kubanga Kabaka ye kitaffe era y'entabiro y'ebyo byetukkirizaamu.

Omutanda asoose kusimbula abaddusi ba kilomita 5, 10, ne 21.

Omulangira David Kintu Wasajja y'abadde omuddusi omukulu era adduse kilomita 21.

Abaana b'engoma okuli; Omulangira Richard Ssemakookiro, Omulangira Criapin Jjunju, Nnaalinnya Victoria Nkinzi, nabo babadewo era beetabye mu misinde gino.

Amyuka omwogezi we kibiina ki nup Alex waiswa mufumbiro asinzidde mu kkomera e Luzira  nawandiikira omulamuzi wa kkooti ...
08/04/2026

Amyuka omwogezi we kibiina ki nup Alex waiswa mufumbiro asinzidde mu kkomera e Luzira nawandiikira omulamuzi wa kkooti ensukkulumu amuyimbule asobole okwetaba ku mukolo gwokuziika abadde mukyala we eyatuvudde ku maaso ekiro kyaleero.

Mufumbiro mubbaluwa eno akakasizza nga bwaludde nga asaba ayimbulwe ajanjabe mukyala we naye nga buteerere.
Kati tulinze kuddamu kwa mulamuzi oba anamukkiriza oba tamukirize!!!

01/08/2024

ABABAKA BA PARLIAMENT KUNKOZESA YENIMINEZENJAWULO.

17/04/2024

Obufumbo sibwangu

TUKYUSIZAAMU MU MPEREZA
02/03/2024

TUKYUSIZAAMU MU MPEREZA

TUSASANYA

02/03/2024

Tosubwa ebyaasa bikyuuka nemwana mulenzi Tenge tenge

Byampuna ,omusomesa apimpinye omwana gwabadde asomesa .
17/01/2024

Byampuna ,omusomesa apimpinye omwana gwabadde asomesa .

Ennyoyni ekika kya namukanga ey'eggye lya UPDF ettuntu lyaleero egudde ku kyalo karugutu-Nyamisigiri, mu Gombolala y'e K...
03/01/2024

Ennyoyni ekika kya namukanga ey'eggye lya UPDF ettuntu lyaleero egudde ku kyalo karugutu-Nyamisigiri, mu Gombolala y'e Kicwamba.
Okusinziira kuberabiddeko bagamba nti eno ebadde eyolekera DR Congo ngegudde yakasimbula ku Ssaka Airfield mu Gombolala y'e Kicwamba.
Kigambibwa nti nga tenaggwa esoose kutomera kasolya ka nnyumba nga tenakwata muliro neggwawo.
Omwogezi wa UPDF Air Force Maj Naboth Mugisha ategeezezza nti kano kabadde kabenje.

Wuuno pastor Alosyious Bujingo owa House of Prayer Ministries mu ddwaliro gyaddusiddwa ekipayoppayo oluvannyuma lw'abazi...
03/01/2024

Wuuno pastor Alosyious Bujingo owa House of Prayer Ministries mu ddwaliro gyaddusiddwa ekipayoppayo oluvannyuma lw'abazigu okusindirira emmotoka ye amasasi agattiddewo drive we

Address

Mityana

Website

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when GRAM TV posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Share