Deighthe's stories

Deighthe's stories Sharing motivational stories

Twakeera nnyo mulyato ery'ali lisabaaza abantu...Kyoka olwo omusujja ogw'amaanyi gwali gunkutteEbigere byange nali sikya...
22/05/2026

Twakeera nnyo mulyato ery'ali lisabaaza abantu...
Kyoka olwo omusujja ogw'amaanyi gwali gunkutte
Ebigere byange nali sikyabiwulira...
Era Kalooli yampeeka ku mugongo okuntuusa mu lyato.

Wabula wetwasimbulira ne wetwatuukira sijja kulimba nti nali manyi ebifa kunsi.
Okuddamu okutegeera nga tuli mu ddwaliro!
Kalooli teyaliiwo wabula yagenda okudda ng'aleese eccupa y'obutunda saako essowaani y'emmere..
Yasanyuka okundaba nga nfunyemu akangubanguba....
Kyeyava aŋŋamba nti "tutekeddwa okukola akabaga okwekulisa byonna."
Kyenava mubuuza nti yye wawona ddi?
nasembayo okukulaba ng'oli mukagaali k'abalema!

Hehehehe Samantha toyinza kukiriza nti ebbanga lyonna ebintu byonna byali bipange?
Musawo Davis yankuba akaama oluvanyuma lw'okuwona.
Yansaba nsigale ng'omulwadde ng'ansubiza obutitimbe bwa sente. Ekituufu yabumpa.
naye amateeka gakyukamu ate naawe bweyakuyingiza mu byokukola!
Naguma kubanga sente nali nzagala....
Naye ebintu byeyongeranga okukyuka!
Nentandiika okutya, kyoka bwenamubuuza ngaŋumya nti bigenda kuggwa nfune sente zange buli omu akwate lirye...

Eby'okugenda ebulaaya okulongosebwa byonna byali byakufuna sente ku Muzeeyi.
Naye kale kasita sente nazifunye....ate naawe nkulina...Kati ebisigadde tujja kubiyitamu
"Ate mukaziwo ali olubuto? ne mutabani wo!" namubuuza.
"mmmmmmm Samantha nkusaba owulire ebigambo byange ate obikirize, byonna byali byabulimba."
Ntegeera luvanyuma nnyo, nti Davis yayagala kuntabula naawe, okirize okundeka ng'omutima gwo mugumu! Kubanga era nange yangambanga bingi ebikukwatako nga bwoli malaaya! Wegwanyiza buli musajja eyo ku mulimu...

Naye kati byonna ebyo tubyerabire....
Ekikulu Kati Wendi ate tewali agenda kunzigyako n'omu!
Okimanyi nti kati naffe tufuuse nga bbo!

Yasittuka mukatebe weyali atudde, n'ankuba akaama nti nina ekisawo kya sente kyenabba eyo ku kizinga wabula nange simanyi ani yali nanyini kyo....
Kati tutekeddwa okusenguka tutandiike obulamu obulala...
Okimanyi kyenkwagaliza....mirembe na ssanyu..
kweyagala..nakuwumula
Toddamu kukola!
Njagala nkuwe obulamu obulungi...
nkwebaze byonna byogumidde...

Naye nga totidde bwenkugambye nti nabbye sente? yadde okuŋŋamba nti nakoze kibi!
yiiii abasajja bano banyononedde omukazi!

Nali njagala kumuwa lugambo ku byenali nzudde mu bulamu bwa muzeeyi, essimu ye nevuga.
Davis lyerinnya eryali ku ssimu...
nali musubiira okufuluma wabweru kyoka yasigala atudde mu katebe.
Yambuuza nti ngikwate oba ngireke?
konze yogera naye otegeere kyamanyi.

Kalooli: aaaalo musawo Davis.
Musawo: Kalooli oli luddawa? twetaaga okwogera kubanga mukaziwo yabuze!
Kalooli: mukazi wange? oba mukazi wa muzeeyi!
Oyo sikyalina kyemwetaaza, wamuntwalako n'omuwa mukwano gwo....ate kati binkwatirako wa? yagyako essimu

essimu yaddamu nevuga, Davis era...
Kalooli: musawo?
Musawo: nkwetaaga otuyambeko mukunoonya Samantha...buzibu bunene nnyo, muzeeyi bwalimu
era mbuliira wooli nkunoone Kati.

Kalooli: hahaha Kati mpuliriza bulungi musawo, sigenda kukiriza kujogebwa kutuuka kwekyo!
bwewandeka ku kisaawe....
nakuba essimu yo nga tokwata! era tewaddamu kumbuuza binkwatako!
ssonga ne mukazi wange mumututte!
kati byononese lw'ojjukira okunkubira?
Njagala omanye nti sagala kuddamu kuwulira ddoboozi lyo, wadde okunsemberera!
Ate bwemba njagadde nsobola n'okuvunaana olwa mukazi wange, lwakuba sikyalina kyemwagaza....
mukole byamwe munesonyiwe...

Ssinze nalaba nga bukedde! Wabula siyinza kunyonyola ngeri gyenatuukamu wenasula.Ku makya nesanga ngalamidde mu ntebe em...
20/05/2026

Ssinze nalaba nga bukedde! Wabula siyinza kunyonyola ngeri gyenatuukamu wenasula.

Ku makya nesanga ngalamidde mu ntebe empanvu eyali mu ddiiro...
ekifo kyali kippya! Wabula nagenda okwetegereza nga siriiwo nzeka waaliwo abantu abawerako nga bonna bebase.
Abaali bebasse wansi! abeziinze mu ntebe, kale ekifo kyalimu abantu.

Nasituka nenfuluma olwo nga nzijjukidde ebizibu byenalimu...
Wabweru nassangawo omusajja eyali akuŋanya
eccuppa z'omwenge ezaali zisasaanye wansi!
zaali nyinji ddala kyenava mubuuzaako....
namusaba nti nsaba kunyambako ku ssimu ye...
tekisangamu buzibu bwonna essimu nagimpa...
nakubira Kalooli awatali kulonzalonza...
namugamba ekigambo kimu nti ndi mu buzibu bunnene nnyo!
Kyeyava anziramu nti nkimanyi era nakuwondera mpaka ku kizinga naye essimu yo teriiko!
Kati oli wa ewatuufu?

Nali ssinamwanukula nanyini ssimu naginona!
Namugamba nti essimu yange baagisudde mu nyanja! Ndi wabweru awabadde akabaga.
Yalina byayogera kyoka sayagala wa ssimu kunekengera kubanga nali ssimumanyi era nga simanyi akolera ani!

Naddamu amaanyi bwenamanya nti Kalooli waali kumpi...olwo nensala magezi muzudde ntya?
Olwo saalina kintu kyonna! Okuleka olugoye lwenalimu mpozi nekyenali nebisse...

Ba muzeeyi bombi n'omukazi omukadde nabalengera nga bajja...okusemberera enyumba mwenali nsuze. Nange kyenakola nenekukuma mu miti nensirika! Nabalaba nga bayita..oluvanyuma lwokutuuka wenali nsuze nga ssiriiwo!
Nabalaba nga banoonya, naddala omukazi omukadde namulaba ngayettala ebweru mu buli kanyomero k'enyumba.

Wenali nsitamye omuntu yankoonako era katono ndekaane olw'okutya ssinga teyankwata mumwa!
Kalooli wange yali anzuudde.
Era yankwata ku mukono netuyita mu miti tetwayita mu kubo wabula eyo mukibira, ewaali amaggwa nebiti ebikandula!
Sibala mirundi maggwa gyeganfumita...
kyoka mu byonna nasigala ntambula...nga Kalooli bwantegeeza nti wetulaga walako ate tutekeddwa okutuukayo mu bwangu...

Ensiissi yankuba bwetwatuuka mukakubo akaali kalembedde agassaanyi agagegya negawola nga tewali wakuyita walala!

Kalooli yampeeka ku mugongo netuyitawo nga nzibiridde....
Yanengeza wetwalina okuggukira okusaanga eryato....
nga kyodduka bwekitaba kinenne obivaako buvi!
waaliwo amayinja agasereera enyo, kyoka nga wansi nyanja era nga bwosimatuka tolutonda!
Kalooli kyeyava aŋamba nti wakiri okufiira wano naye nga tetufiiridde mu mikono gyabatumbavu abo!

Waaliwo abasajja babiri abaali batudde mu lyato bwebatulengera nebakasuka emigwa...
Baatulagira tugyesibe mu kiwato, ate enkomerero tugisibe ku Kati akalabika nga katono nnyo okusobola okuwaniriira obuzito bw'omuntu...
Kalooli yalaba ntinde kyeyava asookayo...
era bwatyo yatuuka wansi...

nange olwo nenfuna obuvumu.
wabula katono omugwa gunve mukiwato!
era nalekaana nti Yesu wange...
bwatyo Kalooli yambaka ssinatuuka bulungi wansi..

Bwetutyo bwetwatoloka okuva ku kizinga.
Entambula yali nzibu ddala kubanga eryato lyali lyankassi sso ssi yingini...era empewo yatusumbuwa abaali baligoba kwekuteesa nti tugobere ku Kazinga akalala akaali okumpi..
era awo wetwagoba.
Kalooli yasasula akayumba mwetwatuukira...
kaali kafunda ddala kyoka nzijukira okukawuliriramu emirembe okusiinga amatiribona gewa muzeeyi.

engoye zonna zaali zitobye olw'amayengo agakubanga mu lyato!
ebigere nali sikyabiwulira nga byonna bisanyaladde! amagulu gonna nga gajjudde ebikwagule! Ye no musajja watu Kakooli
nga awoza kimu nsonyiwa nze nakutuusa mu bino byonna!

Wantuunda meka nzinoonye nkwegayiridde? nfune omukisa okulaba ku baana bange nga ssi naffa! bweyansaba mu bbaluwa gyenas...
19/05/2026

Wantuunda meka nzinoonye nkwegayiridde? nfune omukisa okulaba ku baana bange nga ssi naffa! bweyansaba mu bbaluwa gyenasembayo okufuna okuva gyali.

Mukazi wange naddamu okumuwulizaako luvanyuma lwa mwaka mulamba n'ekitundu!
Kyoka byeyambulira saabikiriza kubanga nalowooza nti okusirika kyali kigenderere...ate era nensonyi zange nazifuula busungu...
kubanga ekituufu sente zenafuna zaali nyingi ddala...
Era olwo bizinensi yange ey'okutunda ettaka yali ettandiise okumpa amagoba amalungi....

Buli lwenalowoozanga okunona mukazi wange nendowooza ebbanga lyamaze n'omugagga obwagazi nebumbula!

Ebbaluwa eyasembayo nagifuna mwaka guwedde!
Mukazi wange yampandiikira ng'asaba munone alabe ku baana be nga ttanafa! mu bbaluwa eyo mwentegereera nti mukazi wange yalekebwa ku Kizinga era jjawangaliidde ebbanga lyonna!
Omukazi owange yambuuza nti wantunda meka?
nzinoonye nkwegayiridde! nfune omukisa ogulaba ku baana bange nga sinaffa kubanga kyensigaliza!
Ebigambo ebyo byantabula era awo kwekunoonya omugagga muddize sente ze none mukazi wange!

Sente kyali tekikyali kizibu gyendi.
Omusajja nkizuula nti yali yasenguka naye bwenamusanga yantegeeza nti okunziriza mukazi
wange ntekeddwa okumuwa sente ze, saako omukazi omuto anasigala mu kifo kye.

Bwentyo bwenatandiika omuyigo gw'omukazi ayinza okukiriza okusaba kwange.
Naye ebbanga lyonna nalemererwa okutuusa bwenakyusa enkola!
Kwekukufuna.....

Labayo tolina kyofiirwa! tolina mwana! omusajja gwobadde otwala nga balo okimanyi bwalina omukazi omulala!!
Ate nekirala nange sirina musango gwonna kubanga tewali ayinza kukumbuuza!
Oli musajja ssi mukazi, kale tewali ayinza kumbuuza Samantha! kubanga simulina era ssi mulabangako! nze manyi musajja sikyo?

Agenda okubyogera ebyo nga nsituse mu ntebe nyimiridde ku nkomerero y'omulyango..
amaziga gampittamu nga gwebabikidde nnyinna!

Yayita omukazi omukadde eyali mufumbiro nti Tulesi jjangu wano....
omukazi yajja akotesse omutwe, era bweyatuuka muzeeyi kwekuntegeeza nti ono ye mukazi wange!
Nzirayo naye ate gwe osigale wano.
amawulire amalungi gali nti omugagga yakusiimye era sisuubira nti ogenda kuyita mu bulamu mukazi wange bweyayitamu!

Nsonyiwa nnyo Samantha, nkimanyi bino sibyewasuubira naye ensi bwetyo kubanga naawe walimba! newefuula kyotali.
Omugagga oyo Kati ye mukamaawo era yakuvunanyizibwako...

Agenda okubibamalayo nga muzeeyi atudde ku kyesuubo yesuuba! Omugagga teyali mulala, wabula muzeeyi eyali aningiza mu ddinisa!

Obulamu bwange bwonna nawulira nga nsaba katonda wakiri atwale Nffe! nveewo okusinga okuzanyisibwa ntyo...
Nawulira nga netaaga okwogerako ne Kalooli kubanga namanya nti byonna byali bipange! byabulimba! kyoka ng'essimu yange yagisudde mu nyanja...

Muzeeyi eyali ampadde akapappula okwali enamba y'essimu yajja anvaako mabega!Saamanya era natambula butereevu mpaka gyen...
18/05/2026

Muzeeyi eyali ampadde akapappula okwali enamba y'essimu yajja anvaako mabega!
Saamanya era natambula butereevu mpaka gyenali ndesse .....hahahaha oba Kati gwe mba mpita baze! namusanga akyafuluuta era teyamanya nti ntambudde okulambula kubitwetolodde..

Saalina ssimu yange!
wabula natekaako telefayina okutwaliriza obudde..
wakati mukwebbowa nafuna ekirowoozo nti lwaki ssi fumba?
nasituka mbagirawo nenyingira ekiyungu..
mu firiigi mwalimu ekyenyanja, ekibumba, nebisambi byenkoko!
Nategeka bulungi...mba nkyayoza ekyenyanja, nga muzeeyi ono!
yankanga!! Edinisa lyali liggule wabula ng'olutimbe lwelubiseewo...
ng'asinziira ebweru, yawenjula olutimbe era katono nzirike..

Kyeyava ampita nti bambi sigenderedde kukutiisa......nsonyiwa, naye jangu wabweru tulabe.
Ebigambo agenda okubimalayo mu kamwa nga nyimiridde ne muzeeyi nyinimu!
bwenadduka olwokutya, nasibira mu kisenge muzeeyi gyeyali yebase...
era ndowooza emisinde gyejamuzukusa,
kwekumperekerako alabe ogubadde..

amaaso yagasimbagana ne muzeeyi munne!
era awatali kunyega kigambo, yaggalawo eddirisa nantegeeza nti nabadde sitekeddwa kweddugaza na byakufumba! Yakuba essimu era mu bwangu wajja omukazi omukadde n'ayingira effumbiro..

Yali mukadde kyoka nasobola okumwetegereza nga ddala yali mukazi mulungi mu biseera bye.

Yaggulawo firigi eyali mukisenge, olwo n'agyayo omwenge.......
Yalabika ng'afunye ebirowoozo oluvanyuma lw'okulaba omukazi......nze namuyitako butterevu mpaka awanaabirwa engalo.....kyoka
oluvanyuma namwegattako ku lubalaza weyali atudde.

Jjako etaala zonna ez'ewabweru...
njagala kunyumirwa munyeenye..muzeeyi bweyandagira.

omusajja oyo abadde mu dinisa omujjukira? muzeeyi yambuuza.
Mmmmmm ssi nyo naye nzijjukira nga gwetwaleka eri kulukalu gyetwatukira!
muzeeyi: oyogedde bulungi.
Ensonga zenakugambako njagala tuzogereko leero....
naye mpuliriza bulungi nnyo...wotategedde mbuuza, njakuddamu emirundi gyonna okutuusa ng'otegedde.

Aaaaa yayiwayo omumiro...oluvanyuma n'agogola emimiro...
Sembera wano.....oluvanyuma n'agogola emimiro...emboozi endagirize?
esaana bayomba...( bwenayanukula nga bwensembera kumpi weyali atudde...)

Kakati ekikulu mu byonna, ku Kizinga wano wenatandiikira okufuuka kyendi leero!
Najja wano NGA NINA OMUGAGGA GWEMPEREKEDDEKO OKUJJA OKULYA OBULAMU...newankubadde yali mugagga, kyoka mu myaka twali twenkana..naye ate nze nali mwavu ekisusse!
Eky'obugagga kyenalina ye yali mukazi wange omuto omulungi...
namwagala nnyo era omukisa gwokuwerekera omugagga ku kizinga......
najja nemukazi wange.

Bwetwatamiira, omugagga yakozesa omukisa ogwo okwebaka ne mukazi wange!!
Kyanyiiza nnyo era twatabukira ddala!!
Kyoka mukazi wange teyalina musango kubanga nakizuula oluvanyuma nti eby'okunywa bye baabitabulamu ebiragalalagala...era ye teyamanya kibaddewo!! Mu busungu obungi nakeera nnyo nenkwatta ensawo yange
nentuula ku lubalama lwenyanja.

Nalinda okulaba eryato lyonna eridda kulukalu
kyoka nga ssiraba!!
Luvanyuma nnyo, omugagga yansanga, kyeyava ambuuza nti mukaziwo omulekera ani?
Nayagala okumukuba ebikonde kyoka nenebeera...
Kyeyava aŋamba nti bwomanya nti toddayo naye, kiriza mussasule...
Neme kusigala nakikolimo kyakubba mukazi wo!
kitwale nti omunguziiza....

Teyampa mukisa kwogera kigambo kyonna, bakanyama be, nebansitula nebanteeka mu lyato...
bwentyo bwenaleka mukazi wange ku kizinga!!
teyalina simu, wadde sente yonna okwekumisa!
(yasooka n'asirikiiriira okumala akaseera)

Bwenatuuka kulukalu, bankwasa essawo gyenali ssimanyi, banfunira omuvuzi eyanvuga okuntuusa mukibuga Mbale eyo gyebandeka.
Bwentyo neninya ezankomyawo e Kampala munnaku enyingi!!

Ensawo gyebampa nalwawo okugisumulula kubanga namanya nti mwemwali sente zenatundamu mukazi wange!!

18/05/2026

Abantu abo begendereze! Bandese wano ku kisaawe mbu ennyonyi yagenze!! Sirina gwendabako....nkubira musawo Davis essimu tagikwata, ono Omulenzi eyabadde nange bwenjogeddeko naye antegezeeza nti ebyange tebimukwatako!
Kale nze ekituufu njakuyiiya nzire ewaka naye ate gwe? Nze sogeza bbuba naye begendereze abantu abo mbekengedde! (bubaka bwenafuna mu ddoboozi ku whatsapp okuva eri Kalooli)

Saamanya nti ebbanga lyenamala nga mpuliriza, ate muzeeyi yali ampita.
Yalaba ssimwanukula kwekusembera wenali.
Yansikako essimu n'agikasuka mu nyanja!
anti twali tutudde ku lubalama nga twota musana...
omanyi akasana ako akasembayo ng'enjuba egolooba kalina engeri gyekanyuma naddala mukifo ekisirifu..

Yaŋamba nti kyenzudde kugwe...tosobola byakuteesa...oyagala biragiro.
Kati nakuleese wano kumponya birowoozo, sikumalako mirembe...
Naye tewandikasuseeyo ssimu yange! (namwanukula)

Eyo essimu ebadde tekyakusaana, ate nekirala tokyetaaga muntu yenna mulala kubanga kewafunye nze, ate kiki ekirala?
Tongamba nti okyawuliziganya ne Kalooli!
Oli omusajja talina magezi, era wali munsobi okuba nti yeyali balo...
Essimu ŋenda kufunira empya ekugyamu ...
nekirala ebikadde byerabire...
tutandiike naawe obulamu obuppya.
(yabyogera bwansunasuna ku matama) sso nganze nali maze okusunguwala era n'okumanya ebifa ku Kalooli.

Yankwata ku mukono, netutambula okudda munda mukisulo..
Amangu ago embeera y'obudde yatandiika okwefulafuula....kyeyava ambuuza nti ssimanyi gwe akyusiza obudde?

Ate ntya? namubuuza.
Kyeyava anywegera ku ttama, mu bulago, yakikola mu bwangu obwekitalo...
olwo twali mulugya olutuyingiza gyetusula.
olwali okuggulawo olugyi, teyalinda neyetema ssippeeya! Yangwira ng'enkoko!
Wuuyo agezezaako okunywegera emimwa, taludde adduse mu bulago, kwegamba yali abugutana-bubugutanyi!
Namukakkanya ne mukolako emikolo!
Saakikola wakati mukwagala wabula namannya nti kyenyinza okweyambisa okwekuuma!

Natya nnyo bweyasuula essimu yange mu nyanja!
ne mannya nti tamanyi kufuga busungu! kale byonna byenakola oluvanyuma...byali lwakwerinda nabutamunyiiza.

Bwetwamaliriza emikolo, muzeeyi yagwa eri natandiikirawo okufuluuta!
Nafuna akadde akamala, okunaaba...nenekolako nga bwenali njagala...
Nenfuluma okudda ku lubalaza lw'ekisulo..
Waaliwo agatebe aganene 2 saako emeeza enetoloovu ate wali ebbali waaliwo ekyesuubo nga kyabantu babiri.
Nga ntudde wabweru...nawubaala olwakasirikiriiro....kyenava nsalawo okutambulamu...
nafuna ekibaalo ky'essimu yange.

Nalaba obufo obunyuma okubiramu ebifananyi kyoka nga sirina!
Ekizinga kyali kikoleddwa ekibira era nga ebisulo byesudde akabanga okuva ku kimu okudda ku kirala kyoka omakubo gonna g'alimu amataala agaaka ekimpowooze..
ngatambuddeko akabanga nawulira oluyogaano, saako omuziki ogwali gulekaana era nga kirabika abaali mu kifo ekyo baaki bangi ddala!
B'awulikika ng'abali mukujjaguza, oba kale tugiyite embaga...
natta kubigere, era nenkyuka okudda gyenali nvudde...
mpozi waaliwo eyali andabye!

17/05/2026

wano tetukozesa bakazi (13).

Mukazi wange omutwala wa? oyagala kumuzaawo!! Munyambe waliwo ekitali kituufu...
Wabeewo anyamba..bye bigambo Kalooli byeyalekaana bwenamuyitako ne muzeeyi okulinya enyonyi.

twamuyitako ng'atudde...waaliwo abantu abalala abasli balinda enyonyi kyoka musawo Davis yali yesudde akabanga okuva Kalooli weyali atudde.
Baamuyitira abakola kubyekwerinda....baamugyawo mu bwangu...era ebyaddirira saabimanya...

Ku nyonyi twatuula mu bifo bya nkizo.
entebe awatulwa yali ngazi bulungi nga omuntu asobolera ddala okwebaka bwaba ayagadde...
tetwaliranagana na muzeeyi...kyankola bubi kubanga nali njagala kumubuuza...
kiki ekiyinza okutuuka ku Kalooli gwetwali tulesse mu mikono gy'abebyokwerinda!!

Twayanguwa okutuuka. Wakati wedakiika 45-60 twali tutuuse...
twayanirizibwa mu bitiibwa era emotoka ezaatunona ku kisaawe zayongera okundaga ebitiibwa bya muzeeyi...

baatutwala butereevu mu kisulo ekyali ku kizimbe gaggadde, kwokomya amaaso!
eno nno gyetwalira ekijjulo makeke...
wamu nabazeeyi abalala...ekyenjawulo nti bbo baalina abawala abato ababali ku lusegere...
newankubadde nali mukazi, tekyamanyibwako mulala yenna okuleka muzeeyi..anti engoye nga nyambadde za kisajja ate n'omutwe gwali mumwe.

Eby'okulya ku meeza byaliko ebiwera, kyoka bonna balyako kati!
abawala batandiika okunkuba oluuso..
nga balaba olulenzi olunyirira!
wabula nange nabasala ekimooni kubanga sayagala bategeere kyendi.

muzeeyi ne banne baafuluma ekisenge mwetwaliira ekijjulo... nange nagoberera newankubadde ng'abawala baasigalayo nga banyiga essimu zabwe saako okwekubisa ebifananyi nga bwebemoola.
Nagenda mbava ku mugongo..
muzeeyi omu kyeyava asikattira..
yankwata ku mukono ng'alinga alina akaama kayagala okumpa...
Kyeyava ambuuza nti naye muzeeyi akuwa meka?
nze njakuzikubisaamu emirundi ebiri osuleko nange ekiro nebwekiba kimu?
Saamwanukula...

Nali ndowooza nti muzeeyi ali mu maaso...kyesamanya nti yali asiggade mabega,
era mu bwangu yankwata ku mukono...
"ngoberera tuve wano".
ngatugenda eyali ansabye okusula naye, yankwasa akapapula mu ngalo mungeri yakwebirira.

Oli bulungi? njagadde tugende ku kazinga naye tugendera mu lyato...(muzeeyi)
eee ebikwatagana n'amazzi nga mbitya! (nze)
naye ate siyinza kukuleka wano! bano bajja kukulya ebisiyaga (muzeeyi)
yiiyi kisoboka kitya ng'ate mbalabye n'abawala ssi basajja banabwe...(nze)
Kyenkubulira ge mazima...guma tugende fembi ku kizinga tulambule, tunyumirwe tomanya oyinza n'okunkwatirwa ekisa nga tuli eyo nendaba ku bisambi byo...(muzeeyi)

Saagala kukuleka mabega...era bwoba togenda awo nange mba sikyagenze!(muzeeyi)
Amazzi ngatya nnyo naye tugende...wabula nzikiriza nga tutuuseyo mbeereko omukazi!
Nsubwa nnyo! njagala okwambala ku bugoye obutono...okuwuga, okwerongosa ng'omukazi...enjala zange nzisigeeko, emimwa gyange! bwokiriza ekyo nange nzikiriza okugenda naawe..

Muzeeyi: tekirina buzibu ekyo! tugenda kubeerayo ffeka.
Nze: naye byonna byenkusabye sirinako nekimu!
ebikola ku njala, emimwa, engoye n'ebisigadde.
muzeeyi: Osobola okukola order y'ebyo byoyagala oba tupangise muntu tugende naye?
ekikusanyusa kyetuba tukola..
nze: ate gwe mukwano? engoye zo tozitwala?
muzeeyi: byonna byatuuseeyo dda! ffe tubulayo.
kati salawo kyetuba tukola...tube nga tugenda mu bwangu...
Nina bingi eby'okugamba nga tutuuse ku kazinga.

14/05/2026

wano tetukozesa bakazi (12)

Ŋenda okukyuka nga muzeeyi ssi mulabako!
namusanga wabweru nga banyumya nemunywanyiwe....
Bweyandaba nasaako akamwenyumwenyu
yandagira mulindiire mu motoka..
ekintu kyenakola.

Mba nakatuula nga mukulu kalooli ono!
essimu;
Kalooli (eyali baze): Owange okyali ku mulimu?
Nze: wangi sebo?
Kalooli: nti okyali ku mulimu? anti ono leero simulabyeko...enjala nga endi bubi!
Nze: ate ani gwotalabye? omujjanjabi namuyimiriza kubanga nategedde nti bakutwala bweru wa ggwanga era nga byonna baakubikolako.
Kalooli: eeee kituufu nnyo ekyo naye nanti ensonga ya kamere....
bansubiza kiro okuntwala naye tewali anfaako, sirina andabiriira ndi wano ntyo!!
kakati wandiyitidde wano ngoddayo ewaka nondetera ku kyokulya...
Nze: kale sebo.( nabyogera mukongooza bigere)
gwate nze gweyayita malaaya!! amangu ago yali anzijjukidde okuba ow'omugaso!

Kalooli: nyamba oŋambire
musawo Davis nti ankubireko ennamba ye gyenina teyitamu...
Njagala ku musisinkana nga sinagenda bweru...
Nze: kale sebo.

Abaali wabweru b'ayingira emotoka era bansanga ku ssimu ne Kalooli.
muzeeyi: oyo ate akugamba ki? lwaki takubira mukazi we! mumpe..
Kati wandyetegese kubanga bajja kunona mu ssaawa ssatu okuva Kati...
Kalooli: ye sebo, naye nandyetaaze ku munange oyo anyambeko okutegeka...
muzeeyi: muno yaani? era ob'ajja binkwatirako wa?
Kalooli: asirikiriira okumala akabanga...
Muzeeyi: ajjako essimu. oluvanyuma ajinziriza.
Toddamu kweralikirira ku nsonga yonna ekwata
ku Kakooli!

Oyo muyaaye! byonna Davis yabiŋamba.
Era Davis bweyakulaba kwekukusasiira, ng'alaba ofiriira omusajja atagenda kukugassa!

Ye no ogamba twalwa? nga tuli kukisaawe!
nabuuza muzeeyi nti " eee kyoka saategese ngoye zetugenda kwambala"...
muzeeyi: kubanga ssakugambye ..tekyetagisa!
twayingira ekisenge ekisirifu awo kyonna kyali kyetoloddwa ndabirwamu nga buli ekigenda mu maaso tukilaba...
awo no twanywawo kaawa...
muzeeyi yalina empapula zaayisaamu amaaso nga bwasaako omukono...
twalwawo nnyo! era namulaba ngasisinkana abantu abenjawulo bangi,

oluvanyuma Kalooli yatuuka...
namulengera ebweru w'endabirwamu.
yali atudde mu kagaali k'abalema ..
nga Brian yasindiika akagaali...
nalengeera omukazi eyali amulinyanye ku mukono ogwa ddyo! yali alabika okuba olubuto kyoka nga ssi lunnene nnyo!
era yali akutte omwana omulenzi ku mukono, yali wakati w'emyaka 2-3.

Awatali kubuuza omulenzi ng'afanana Kalooli!!
bwojja nti omutwe baali bagutemye ku Kalooli nebaguteeka ku muto.
Baatuuka nebamusiibula era nalaba Kalooli namaaso gange nga anywegera omukazi eyali olubuto...olwo nemannya nti alabika ye mukazi gwenawulira ayogerako ne muzeeyi.

omulenzi yamusitula, naamulera. Alina byeyamugamba ng'omuto bwanyenya omutwe okulaga nti akiriziganya naye..
Wajja omusajja omulala gwesamanya, era yali mu bwangu...
wabula nagenda okumwetegereeza nga nali mulabyeko ne muzeeyi...
bweyatuuka olwo omukazi n'omulenzi nebasiibula...
Brian naye naasibula..
Wabula ku maaso Kalooli yali mweralikirivu....

Simanyi kisa gyekyava naye namutunuliira ne musasiira
Ensonga zonna zaali zimala okunyiigira Kalooli!
Twali tumaze emyaka ettaano beddu mu bufumbo, kyoka nga yaŋaana okuzaala nti tayagala tuzaalire mu bupangisa!
kumbe ye ebbali yalina omukazi era nga n'okuzaala agenda mu maaso...
newankubadde nali ntegeddeko oludda lwa Kalooli olulala, bwenamulaba ekiro ekyo, yankwasa ekisa...

Bino obijjukira?
13/05/2026

Bino obijjukira?

EYATUWA OLUGERO LUNO TUKUSIIMA NNYO.

Omusota gwabojja enkoko, obusagwa nga bubabukirira mu mubiri gwayo, yatambula nenoonya obubuddamo mu kiyumba ky'enkoko zinaayo.

Naye enkoko zasalawo okujigoba obusagwa buleme kusaasana mu zo.

Enkoko yakongojja nga bweyeyongerayo mu bulumi, yeyongerayo Wala okuva ewaali nkoko zinaayo.
Yakaaba nnyo nga bwegenda, sirwakubanga yali ebojjeddwa, wabula kubanga yali egaaniiddwa nkoko zinaayo.
Yalumwa nnyo nti beyalowooza okubeera abekika ate baamugoba mukiseera weyali asinga okubetaaga!

Bwetyo yagenda ng'omusujja gujikutte, nga n'okugulu ewalula kuwalule wakati mu mpewo y'ekiro. Gyeyakoma okweyongerayo...
Gyeyakoma okukaaba amaziga.

Enkoko ezaali mu kiyumba zajiraba ng'ebulirayo, nezigambagana zokka na zokka nti
Agende...afiire eyo. Ssosi wano muffe.

Enkoko bweyabulirayo eyo ewala ddala, ezaali mu kiyumba nezikakasa nti efudde.
Ezimu zaalingiza mu bwengula nga zisuubira okulaba ensega....

Ekiseera kyayita.
Oluvanyuma ennyo konkona muti yajja eri enkoko ezaali mu kiyumba. Yazigamba nti muganda wamwe mulamu.
Abeera mu mpuku Wala nnyo okuva wano. Yawona kyoka okugulu okwabojjebwa omusota kwabwako.
Afuna obizibu okunoonya emere. Yetaaga obuyambi bwamwe.
Waaliwo akasirikiriiro, olwo buli nkoko netandiika okwewolereza.
- Nze sisobola kugenda, nkyabiika magi.
-Nze sisobola kugenda, noonya kasooli.
-Nze sisobola kugenda, Nina okulabirira obwana bwange.
Emu kw'emu zonna nezigaana okugenda!
Konkona muti neddayo nga terina buyambi.

Ekiseera kyayita nate.
Konkona muti yakomawo eri enkoko kyoka yalina amawulire agennaku!
-Muganda wamwe afudde. Talina baakumuziika, wadde okumukungubagira.
Afudde munaku nnyo! Nga taliiko ajanjaba!
Era Ali bwomu mu mpuku.

Mu kaseera ako obuzitto bwokukungubaga, n'okwejjusa nebubuna ekiyumba kyonna.
- Ezaali zibiika nezirekayo!
-Ezaali zinoonya kasooli nezibivaako!
-Ezaali zirabirira obwana bwazo nezibwerabira!
Okwejjusa kwaziruma okusinga obusagwa bwonna.
Lwaki tetwagendayo mubwangu? Nezebuuza.
Awatali kupima buwanvu bwalugendo! Awatali kwebuuza nakwekwasa nsonga yonna...
Zonna zaatambula okugenda mu mpuku okuziika nkoko ginaazo.
Zaagenda zikaaba nga zikungubaga, olwo zaalina ensonga okulaba muganda waazo, naye kyali kikeerezi nnyo.
Bwezaatuuka mu mpuku, nga temuli nkoko yonna wabula ebbaluwa eyali esoma nti
"MU BULAMU, EMIRUNDI MINGI ABANTU TEBAFAAYO KUYAMBA NG'OKYALI MULAMU, NAYE BAFAAYO NNYO ERA BAKOLA KYONNA EKISOBOKA OKUZIIKA NG'OFUDDE. N'AMAZIGA AGASINGA MUKUFIIRWA TEGABA GA BULUMI! WABULA NGA NSONYI NAKWEJJUSA."

Abaffe singa wali emu ku nkoko ezo wandiziizaako ki?

12/05/2026

wano tetukozesa bakazi (11)

Abakazi abakazi!!!! Kyogamba wali tokimanyi nti balo alinayo omukazi omulala?
Nze mbadde ndowooza nti byonna byokola obikola kuvuganya mugyawo!

Oddayo nange oba osigala wano ne balo?
muzeeyi bweyambuuza.
Awatali kuddamu kigambo kyonna nayingira mu motoka nentuula ntende.

Muzeeyi yalwawo ng'ayimiridde wabweru we motoka... yalaba senyeenya naye bwatyo yayingira naatuula.
Yambuuza nti kyogamba emotoka egenda kwevuga??
Anti olwo nail ntudde mabega...
Nasituka ŋende nkole ogunsasuza...
Kyoka muzeeyi kyeyava ambuuza nti naye onasobola okuvuga?
Ng'olabika oli mubirowoozo bingi!

Bwenagisimbula saatunula mabega!
Wabula okumubuuza nti tudda wa?
olwo nga tutuuse ku luguudo olunene..
se
Yaŋamba nti kanvuge..
kyoka nagaana nga ndaba omulim, gumpita mu ngalo..
kyoka yankakasa nti tekiirina buzibu ye okuvuga...
bwentyo nemuwa steringi

Muzeeyi yavuga emotoka ng'alinga avuga eyempaka, natuuka ekiseera nemwegayiriira anzirize steringi kyoka nga byonna ninga amansa ensaano ku mazzi..
Sinze nalaba nga tutuuse!

Yafuluma emotoka, era naampa omukono olwo netuyingira ng'ankutte ku mukono ng'abagalana...
ku mulundi guno salumwa kukwata mukono na muzeeyi wabula nagamba nti ekiba kibe....

Era nateekako akamwenyu okutuusa bwetwayingira munyumba munda...
wabweru waaliwo abantu abatonotono abaali batudde era baali mu mbeera yassanyu nga bali mukunywa saako okulya...

Munyumba Muzeeyi yantegeeza nti ekituufu nkwagala...newankubadde nga simanyi kukwana bulungi...
Sigenda kuppapira era njagala otwale obudde bwo bwonna okutuusa lwoliyagala mbeere balo....
wabula ebweru tutekeddwa kweyisa nga bafumbo essaawa yonna...

Nekirala gwe oli musajja....era enyambala essigala nga bwebadde...
Wabula tokyavuga muntu mulala yenna okuleeka nze, ate era ne mirimu nze ngikuwa....
otegedde?
Totekeddwa kulaga bunyoomi bwonna, kubanga ekyo nze nsobola okukiguminkiriza naye benkulira tebasobola....
ate saagala kubalaga nti owangudde omutima gwange...
ekyo bajjakukiyita bunafu!

Kale nkusaba mungeri yonna kuuma ekitiibwa kyange...ate era oli musajja nkiddamu oli musajja!

Nga muzeeyi akyayogera waliwo eyakonkona ku lugyi...wabula muzeeyi teyayanukula.
Essimu yavuga, muzeeyi kwekugikwata..nti yingira butereevu onindireko awo muddiiro...

Bweyava ku ssimu yantunulira...kyeyava ambuuza nti osobola okumperekerako oba okooye?
Nali njagala kumugamba nti nkooye...
kyoka nemulimba nti nsobola.

Yaseka nti kyoka Sam! olwokuba nkugambye nti oteekweddwa okukuuma ekitiibwa kyange?
Labayo bwetubeera ffembi njagala obeere wazima gyendi wabula wewabeerawo abantu abalala awo osobola okwekaka okukola kyotandiyagadde....

Kati nziramu okubuuza, Osobola okumperekerako oba okooye?
Konze, nkuwerekerako wa?
Otyo, obuziiza bulungi...(muzeeyi)
Njagala ku genda kuwumulako eyo ku bizinga...naye walako tugendera mu nyonyi.
Nze: Sandigenze kubanga ntya okutambulira ku mazzi, naye ennyonyi awo tugende...

Anti situka batulinze wabweru! muzeeyi

Tetusoose kunaabako? kukyusa ku ngoye? nze
Oooh kale naye jjukira oli musajja ssi mukazi olina okuyiga okola ebintu ng'abasajja...
Tugende tunaabe, muzeeyi bweyaŋamba.
Nasituka mbagirawo nenyingira ekinaabiro...
wabula yali mukwata mpola teyampapira...
era yaguminkiriza nemala okunaaba...
bweyayingira ndowooza yeyiwako bweyiyi mangu nambiro ng'afulumyeyo...

Yansanga noonya kyakwambala...
olwo nga nesibye tawulo...
yansemberera mu mugongo...
nankwatako...kyoka nakyuka mangu okumutunulira...
kyeyava aŋamba nti oyagala kwambala ngoye za bbawo?
konze sirina lugoye,
yaggulawo duroowa endala nandagira okulondako lwensiimye...

11/05/2026

Wano tetukozesa bakazi 10.

Muzeeyi yankwata ku mukono ng'ansika okudda ku luudda lwe....
anti olwo baze yali ansenze eri....
Saaguminkiriza muzeeyi, bwentyo nengwa wansi.
Nafukamira nga bwenegayiriira baze, wabula nga tampulira!

Muzeeyi yasembera awaali baze, kyeyava amugamba nti abasajja nga gwe...
temulina buyinza kutondowala!
Oli wano tomanyi kiddako? Omukazi yayiiya bambi, Kati olwo onyiiga ki?
Ekindeese wano, kwekulaba butya bwenyinza okukuyamba....

Wano tewali buyambi bugenda kukusobozesa kuddamu kutambula nakukola mirimu gyo nga olubereberye!
Ekyo tebakikugamba kubanga era baakiraba nga sente tolina...
Ensonga zo baazintegezaako...
Era twakoze entegeka ekutwala ebweru ofune obujjanjabi obusingako buno...
Tetukubanja, wabula nesasuddemu musajja ono Sam...gwe gwoyita mukazi wo.
Era obufumbo empapula yazitaddeko dda omukono....

Simanyi oba osobola okuwandiika Kati oba nkuguminkirizeemu edda,
Empappula zikwogerako nga mukulu wa Sam,
era obufumbo bwaffe buli wakati wa basajja babiri...nze ne Sam...era nga Sam wakusigala nga wange kasita okiriza okuteeka omukono ku mpappula....olwo naawe ofuna omukisa okujjanjabibwa...ate era ojjakudda mangu mu mulamu bwo....

Omukisa weguli, nsobola n'okukufunira omulimu ng'okomyewo...
kati okusalawo kuli gyoli...
Nafuba okwegayirira baze kyoka nga n'okuntunulako takyayagala.

Gwe nali manyi nti tayogera, kyeyava agamba muzeeyi nti "nsaba kwogeramuko naawe kyama"
Muzeeyi yatambula ebigere bisatu - bina okuva wenali nfukamidde naayimiriira.

Baze mu bigambo bye namuwulira nga buuza muzeeyi nti "Kati singa tekaako omukono, bujjanjabi bwoka bwenfuna? nsaba kuyambibwa ninayo mukazi wange ali lubuto. Nsaba buyambi, bwendidda nettandika okukola ndi kusasula"

Nawulira baze ngayogeza bumalirivu nti "anti Kati tuli mu byakuteesa...nze eyo malaaya ngikulekedde...naye mpa obukakafu nti mukazi wange agenda kuba bulungi okutuusa lwendidda"

Muzeeyi...yasirikiriira.....
kyoka oluvanyuma yamwanukula nti abeera wa?
ŋenda kukusindikira omuntu
agenda okujja nempappula oziseeko omukono, era oyo gwojja okugenda naye, omulage mukazi wo...nebirala byonna.
Tujjasigala nga tuwuliziganya okumanya enteekateeka zonna...

Baze nga takakiddwa yawaayo engalo ze eri muzeeyi ng'alinga amwebaza olwekyo kyeyali amugambye..

Yatambula naakomawo ku kitanda kye...
bweyantunulako nansooza....
Olwo nali sikyakaaba! Wabula nga nebuuza oba nali mpuunze? oba byenali mpulidde ddala byali bivudde mu kamwa ka baze!

Awatali kukakibwa, nasituka wansi, nentambula butereevu okuddayo mu motoka ya muzeeyi..
"eyo malaaya ngikulekedde" kyasigala kiwawaala mu matu.....
Nze eyali yewaddeyo obutesigaliza kitiibwa kyonna...essaawa eyo nali malaaya!

Nga nyimiridde wabweru w'emotoka!
Nakyogera nti "Naye ddala ndi malaaya?"
Eddoboozi okuva emabega wange lyanyanukula nti toli malaaya.....yensonga lwaki nafuba nnyo oveewo wano, osobole okutandiika obulamu bwo...
Singa mbadde gwe...
sandizeemu kunakuwala kubanga kyolina kisinga kyolese....

Abaffe bigwera wa?

Address

Mukono

Telephone

+256741400292

Website

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when Deighthe's stories posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Contact The Business

Send a message to Deighthe's stories:

Shortcuts

Share